
Donald Trump, Pulezidenti wa Amerika
Ng’eyita mu pulogulaamu ya Pulezidenti wa Amerika,eya ‘’US President’s Emergency Plan for Aids Relief’’, Amerika ewadde Uganda obukadde bwa ddoola 406 (eza Uganda 1,470,938,000,000) nga zino zirinnye okuva ku bukadde bwa doola 391 (eza Uganda 1,416,593,000,000).
Kino kiri mu ntegeka z’okulaba ng’omwaka 2020 wegutuukira nga Bannayuganda 90 buli kikumi bamanyi oba balina akawuka oba nedda era abalina akawuka 90 buli kikumi nga bali ku ddagala.
Abantu akakadde kamu n’emitwalo 35 be balina akawuka ka Siriimu mu Uganda nga ku bo 890,000 be bali ku ddagala.
Obuyambi buno buddiridde omukungu wa gavumenti ya Amerika avunaanyizibwa ku Siriimu, Ambaasada Deborah L. Birx ng’awerekerwako omubaka wa Amerika mu Uganda, Deborah R. Malac ne Minisita w’Ebyobulamu, Dr. Jane Aceng okusisinkana e South Africa ne batongoza entegeka zino.
Mu kulwanyisa abakazi okusiiga abaana baabwe obulwadde buno Uganda ekoze bulungi.
Ebirala mulimu okuyamba abaana abalina akawuka obuteeyongera kugonda.
Okuyamba abasawo abajjanjaba abalina akawuka, wamu n’okudduukirira abanoonyi b’obubudamu mu by’okulwanyisa akawuka.