TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Ddala ensinza y'ekirokole esensedde Ekkanisa ya Uganda?

Ddala ensinza y'ekirokole esensedde Ekkanisa ya Uganda?

Added 22nd May 2017

ENSINZA y’ebyamagero mu Kkanisa ya Uganda etandise okusimba emirandira ng’ebintu bingi ebikolebwa mu makanisa g’Abalokole bitandise eno.

 Apostle Victor Uchegbulam okuva e Nigeria ng’asabira Abakristaayo e Namirembe.

Apostle Victor Uchegbulam okuva e Nigeria ng’asabira Abakristaayo e Namirembe.

Mu Bulabizi bw’e Namirembe n’awalala, kati amakanisa mangi gaatandikawo okusaba kw’emisana, era nga mu kusinza kuno abantu bagobwako emizimu, basabirwa okufuna ebyamagero, basabirwa okuwona endwadde, n’ebizibu ebirala.

Ku Ssande ewedde nga May 15,2017, Lutikko e Namirembe yakyazizza omubuulizi w’enjiri ayitibwa Apostle Victor Uchegbulam okuva e Nigeria.

Mu kusaba kuno, Apostle Victor yaleese ensaba eyabadde tennalabwako mu Lutikko, bwe yalagidde abasumba basse amaviivi n’emikono ku ttaka basabe era ne bakikola.

Mu kusaba kuno, Apostle Victor yeetegereza omuwala ayitibwa Gorret Nakisaka agambibwa nti yali tayogera, ono yamuyiseeyo gye yabadde n’ajja ku kituuti n’atandika okumusabira nga bwamutaddeko emikono.

Oluvannyuma lw’okumusabira okumala eddaakiika nga ttaano, Apostle Victor yalagidde omuwala ayogere ekigambo Jesus, omuwala n’akyogera Abakrisitaayo ne basanyuka n’enduulu wamu emizira ne bisaanikira akasozi Namirembe nga batendereza

Omukama olw’ekyamagero ekyabadde kikoleddwa nga kigambibwa nti omuwala yabadde awonyezeddwa. Ensaba kati nayo ekyuseemu, gamba nga mu Lutikko, Omusumba bw’aba asabisa, Abakristaayo eno nabo buli omu abeerako essaala ye gy’asaba wakati mu kuwanika emikono ekitabaddewo emabegako mu nsinza Ekristaayo.

Waliwo ekiseera bwe kituuka, abantu ssekinnoomu ne bavaayo ne bawa obujulizi obw’ebyamagero bye babeera bafunye era ng’enkola eno ebadde esinga kubeera mu makanisa ga balokole.

Okusaba okukeesa obudde n’okumalako omwaka nabyo kati amakanisa mangi wonna gakwettanidde ate nga gyebuvuddeko kubaddenga kutegekebwa makanisa ga balokole.

AKULIRA EKITONGOLE KY’ENJIRI E NAMIREMBE ANNYONNYOLA

Rev. Samuel Muwonge yategeezezza nti kikyamu omuntu yenna okugamba nti omusumba oba omubulizi y’awonya wabula Katonda ayita mu Mwoyo omubuullizi yenna n’asobola okusabira abakkiriza ne batereera.

“Nsoberwa abantu abagamba nti okuyimba n’okuzinira mu kkanisa kikyamu kuba bw’osoma Zabbuli eye 150, Katonda agamba nti munsinze nga mukuba ebivuga ssaako okuyimba ennyimba ez’amaloboozi.

Omuntu okuvaayo n’agamba nti Ekkanisa ya Uganda ekoppye abalokole, aba tamanyi byawandikibwa kuba okuviira ddala ku mulembe gwa Martin Luther ebyamagero byaliwo ng’abantu bawonyezebwa era omulimu gwaffe gwe tutandise kwe kubizuukusa okuva omulabe gye yali yabikweka tukomewo n’amaanyi amapya mu Kkanisa ya Uganda.

Mu kino Obulabirizi bw’e Namirembe bwatekawo okusaba kw’ekyemisana buli Lwakubiri mu Lutikko, olukuηηaana lw’enjiri oluberawo emirundi ebiri buli mwaka ssaako okusaba kw’okwaniriza omwaka okubeerawo mu bimuli bya Lutikko n’okusaba okulala.

Okugamba nti abakkiriza okuva mu Kkanisa ya Uganda bayinza okwegatta n’abalokole nze si kiwakanya kuba abo bebamu ku ndiga ezaabula era bwe beegatta wamu bagenda kukomawo eno sso ssi ffe kubula.

Ekkanisa ya Uganda okuteekawo okusaba kw’ekyemisana, okw’okuyita mu kiro ssaako okuzinira mu kkanisa ng’abakkiriza batendereza tebali ku mulamwa gwa kunoonya byanfuna wabula okukyusa obulamu bw’abo abali mu kukaaba n’okudaaga nga kino tukikola tuyita mu ssaala ze tusabira abantu ssaako okuyimba ennyimba ezibazzaamu essuubi.”

AMYUKA VIIKA WA LUTIKKO E MUKONO ANNYONNYOLA:

Rev. David Kaggwa amyuka Viika wa Lutikko y’e Mukono agamba nti ensinza y’okusaba kw’ekyemisana, okutegeka enkuηηaana ssaako okusaba kw’okuyita mu kiro wamu n’okwo okw’okusabira abantu mu maka gaabwe kwatandika dda mu kkanisa ya Uganda wadde nga kwatuuka ekiseera ne kusirikamu nga kino ky’ekireese abamu okukoloowoza nti bintu bipya.

Okutegeka okusaba kw’ekyemisana, okutegeka enkuηηaana ssaako okusaba kw’okuyita mu kiro eddiini zonna zibikola.

Ekkanisa ya Uganda bino tebikoze lwa kwagala ssente okuva mu bagoberezi oba okweranga wabula ekikola okulaba nti abantu badda eri Mukama ssaako okuwaayo obulamu bwabwe eri ye asobole okubayamba mu mbeera yonna”.

Mu Kkanisa ya Uganda nayo waliyo okukola ebyamagero ssaako okusumululwa wadde nga bino ababuulizi ab’enjawulo babikola nga mwoyo amaze kubakkako ng’eno y’enjawulo wakati waffe n’abalokole.

Bw’otuula ne weekenneenya mu myaka egyedda, twalina ensinza y’okukba ebivuga mu ddoboozi ely’amaanyi, okuyimba ennyimba z’amaloboozi, okubuukira mu bbanga nga tusinza Katonda, okuwonya, okutegeka enkuηηaana z’enjiri era bino ataaliwo tayinza kumanya nti byaliwo’Rev. Kaggwa bweyajjukizza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eyeefudde agula essimu n'ag...

Bya Rosemary Nakaliri  Abasuubuzi b'oku Kaleerwe baazingizza ababbi abeefudde bakasitoma abazze okugula essimu...

Kayemba n'ensawo ye emweyagaza.

Kyama ki ekiri mu bbulifukk...

Geoffrey Kayemba Ssolo avuganya ku kifo ky’omubaka wa Bukomansimbi South ensawo ya Jjajja we emweyagaza.

Minisita Kibuule mu ssuuti ng'atongoza okusimba emiti gy'amasannyalaze.

Ab'e Nama bawonye okusula m...

Abatuuze mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono bafunye akaseko ku matama bwe babawadde amasannyalaze...

Kasingye ng'akwasa Omusumba Jjumba masiki.

Poliisi n'amagye byetondedd...

POLIISI n'amagye byetondedde Omusumba w'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa (mu kifaananyi ku ddyo) olw'okukuba...

Buchaman ne mukyala we nga bakwasa abaserikale ebyambalo by'amagye.

Buchaman awaddeyo ebyambalo...

OMUWABUUZI wa Pulezidenti ku nsonga za Ghetto, Mark Bugembe amanyiddwa nga Buchaman akwasizza ab’ebyokwerinda ebyambalo...