TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ababaka bakunyizza Minisita Tumwebaze ne bamwetonza

Ababaka bakunyizza Minisita Tumwebaze ne bamwetonza

Added 23rd May 2017

ABABAKA bakunyizza minisita w’ebyempuliziganya Frank Tumwebaze ne bamwetonza olw’okuzimuula ekiteeso kya Palamenti eky’obutaggyako masimu g’abantu abaabadde batanneewandiisa.

 Minisita Frank Tumwebaze

Minisita Frank Tumwebaze

Kyokka  basiimye Pulezidenti Museveni olw’okuwuliriza ekiteeso kyabwe n’asalawo amasimu agaabadde gaggyiddwaako gazzibweko  okumala emyezi esatu okutuusa ng’abantu bamaze bulungi okwewadiisa.

Bino  bibadde mu Palamenti ekubiriziddwa sipiika Rebecca Kadaga ababaka bwe beesaze akajegere ne balangira Tumwebaze okubalengezza bwe yagenze mu maaso n’okulagira amasimu gaggyibweko nga bagamba nti n’olulimi lwe yakozesa lwali lubalengezza.

Kyokka Tumwebaze yeetonze n’agamba nti ye bye yayogera tebyali bigambo bye wabula yali ategeeza ggwanga ebyo ebyasalibwawo gavumenti ng’olukiiko olwabisalawo mwalimu ne Katikkiro Dr. Ruhakana Rugunda.

Wabula Kadaga yamuwabudde  nti olulala bw’abanga alina by’ayagala okwogera ku bisaliddwawo Palamenti asookanga kutegeeza Palamenti nga tannalandukira mu baamawulire.

Omubaka Theodro Ssekikubo (Lwemiyaga)  alaze okwenyamira nti ebintu bwe binaatambula biti Palamenti ejja kuggweeramu ddala ssupu. N’agamba nti yeewuunya Pulezidenti okuba nga y’akola ku buli kimu.

Joseph Ssewungu (Kalungu East) agambye nti kibi okuba nga Tumwebaze tatera kubeera mu Palamenti! N'agamba nti ne bye yayogera yabyogerera bweru wa Palamenti.

Wabula Tumwebaze yeewozezzaako nti  gavumenti ye yasazeewo okuggyako amasimu era teyaziggyeeko lumu wabula yaleseeko ‘’mubayiro mane’.

N’agamba nti eby’okuwandiisa amasimu ab’ebyokwerinda be baabisalawo  so ssi ye ng’omuntu. Oluvannyuma ne yeetonda:

‘’Neetonda olw’okwogera ebyasalibwawo gavumenti.’’

Kyokka Kadaga yasiimye Pulezidenti Museveni olw’okuwuliriza Palamenti n’ayongezaayo.

‘’Waliwo abaana abato abalina amasimu naye nga tebalina densite kwewandiisa. Waliwo n'abakulu mu myaka abateewandiisizza . Gavumenti erina okujja ne pulogulaamu y’okuwandiisa amasimu bw’erina okutambula,’’ bw'atyo Kadaga bw'agambye.

Akulira oludda oluvuganya,  Winnie Kiiza agambye nti essimu tezinnaddako, n’agamba nti Tumwebaze ajje n’okwetonda mu buwandiike so ssi mu bigambo bugambo.

Sipiika ensonga eno azikwasisa akakiiko ka Palamenti akakwasisa empisa okulaba ekigenda okuddako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutaka Walusimbi alagidde ...

OMUKULU w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Kigumba Walusimbi alagidde olukiiko olufuzi olw'ekika kino...

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...