
Hositeero Ivan Ssemwanga gy’abadde azimba ku Sir. Apollo Kaggwa.
Okusinziira ku maneja w’omugenzi Ssemwanga, Henry Kato, eby’obugagga bya Ssemwanga ebisinga biri South Africa.
Mu kimu ku by’obugagga Ssemwanga byabadde alina, kuliko amasomero agayitibwa Booklyne Colleges agawera 10 agasangibwa mu masaza ag’enjawulo mu South Africa.
Erimu ku masomero ga Booklyne Colleges Ivan gy'alina e South Afrika
Abadde atunda n’okugula amayumba mu South Africa, ng’alina amaka galikwogerako ga mirundi ebiri mu kibuga Pretoria , ssaako buzinensi endala zaabadde akola ne banne.
Kato agamba nti mu Uganda, abadde n’ekizimbe eky’amaanyi ku luguudo lwa Sir Apollo Kaggwa mu Kampala era nga okusooka yalina entegeka okukifuula hostel kyokka wafiiridde yali afunye ekirowoozo okukifuula woteeri.
Omugenzi Ssemwanga wafiiridde abadde n’amaka ag’amaanyi e Muyenga agabalirirwamu obuwumbi bwe nsimbi za Uganda 6.
E Kayunga gye bamuzaala, Ssemwanga abadde ateekateeka okuzimbayo essomero erirabirira abaana abatalina mwasirizi era nga yali yaggulawo ekitongole ekirabirira abaana enfuuzi.
Abadde alina mmotoka ez’ebbeeyi eziwerako nga yeyasooka okuleeta mu Uganda mmotoka y’ekika kya Lamborghini emu ku zisinga okubeera ez’ebbeeyi mu nsi.
Mu zimu ku mmotoka zino kuliko Range Rover Sport, BMW, n’endala.