TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Diamond Platinumz, bba wa Zari yeeyamye okuwagira mu lumbe lwa Ssemwanga

Diamond Platinumz, bba wa Zari yeeyamye okuwagira mu lumbe lwa Ssemwanga

Added 26th May 2017

DIAMOND Platinumz bba wa Zari avuddeyo ne yeetema nti mwetegefu okuwaayo ensimbi okuyamba ku kyetaagisa kyonna mu kufa kw’abadde musajja munne omugenzi Ivan Ssemwanga.

  Diamond Platnumz ne Zari gye buvuddeko.

Diamond Platnumz ne Zari gye buvuddeko.

DIAMOND Platinumz bba wa Zari avuddeyo ne yeetema nti mwetegefu okuwaayo ensimbi okuyamba ku kyetaagisa kyonna mu kufa kw’abadde musajja munne omugenzi Ivan Ssemwanga.

Diamond Platinumz, enzaalwa y’e Tanzania, mu kiseera kino ye bba wa Zari era yaweerezza mukyalawe obubaka obukubagiza okufiirwa taata w’abaana be n’amugumya nti ali wamu naye mu kiseera kino ekizibu.

Omukutu gw’amawulire e Tanzania ogwa www. mwalimwengutu wetu.com gwalaze nti Diamond PLatnumz yagambye nti talina buzibu bwa mukyala we kungubagira eyali bba kuba amulinamu abaana basatu noolwekyo ateekeddwa okuyimirira awamu naye mu kiseera kino.

Hassan Zari okugenda mu ddwaaliro e South Africa okujjanjaba eyali bba, Ivan Ssemwanga ehhambo zaayitihhana nti kyanyiiza bba omuyimbi Diamond Platinumz kyokka bino Platnumz yavuddeyo n’abiwakanya.

Diamond Platinumz agamba nti yali akimanyi bulungi nti mukyala we agenda kujjanjaba eyali bba eyali mu mbeera embi ng’era ye yamuwa olukusa oluvannyuma lwa Zari okufuna essimu emutegeeza nga Ssemwanga bwe yali mu ‘kkomma’ mu ddwaaliro lya Steve Biko e Pretoria south Africa.

Bino yabinnyonnyodde omusasi wa leediyo ya Clouds fm e Tanzania. Diamond platinumz yayogedde ku Ssemwanga ng’abadde omusajja ow’obuvunaanyizibwa era nti baasooka kusisinkana ku mukolo gwa MTV Awards e South Africa emyaka ebiri egiyise era abadde talina buzibu bwonna naye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuserikale ng'ayingiza Mabaale  mu kaduukulu.

Eyateeze muliraanwa n'amute...

POLIISI y’e Mpigi ekutte omutuuze n’emuggalira lwa kukakkana ku muliraanwa we n’amutema ejjambiya ku nsingo n’ekigendererwa...

Asooka ku kkono ye mumyuka w'akulira yunivasite ya UCU, Prof. Aaron  Mushengyezi ate asooka (ku ddyo) ye Ndyanabo.

Vision Group enywezezza enk...

YUNIVASITE ya Uganda Christian University eyongedde okunyweza enkolagana yaayo ne Vision Group. Enkolagana eno...

Sipiika Jacob Oulanyah.

Omumyuka wa Sipiika wa Pala...

OMUMYUKA wa Sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanyah era nga yeegwanyiza n’entebe ya Sipiika mu kisanja kya Palamenti...

Christine Luttu, Pulezidenti wa Rotary Club y'e Kololo ng'akwasa Charles Mugme (ku ddyo) engule.

Bannalotale basiimiddwa olw...

ABALOTALE ye Kololo basiimye abamu ku bammemba baabwe abakoleredde ennyo ekibiina kyabwe mu kutuusa obuweereza...

Abaavunaaniddwa mu kkooti y'amagye.

ABAGAMBIBWA OKUNYAGA OMUKOZ...

ABAGAMBIBWA okulumba amaka g’omukozi wa bbanka nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu kkooti y’amagye omu nakkiriza...