TOP

'Polof. Mukiibi alese amabanja mangi'

Added 30th May 2017

FAMIRE ya Polof. Lawrence Mukiibi etegeezezza nti kitaabwe bizinensi y’amasomero abadde agiddukanyiza ku mabanja era w’afiiridde nga mangi ku go tegannasasulwa kyokka gonna gajja kusasulwa gaggweeyo.

 Polof. Mukiibi, nnannyini St. Lawrence University

Polof. Mukiibi, nnannyini St. Lawrence University

Omu ku bawala b’omugenzi, Maria Justine Tulina Nakitende, nga y’abadde addukanya amasomero ne kitaawe, yategeezezza nti amabanja agababanjibwa mangi era gonna bagamanyi nti kyokka ekirungi waliwo enteekateeka ey’okugasasula.

“Ssente ez’okusasula amabanja gano tumanyi aw’okuziggya kubanga bizinensi zitambula bulungi’, bwatyo Tulina bwe yagumizza ababanja.

Gye buvuddeko, omugenzi Mukiibi yali ayogera n’aba Bukedde TV ku pulogulaamu y’Omuntu w’abantu n’ategeeza nga bw’alina amabanja amangi n’akiggumiza nti tewali muntu ayinza kukola bizinensi y’amaanyi nga teyeewoze naddala okuzimba amasomero.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...

Ennyumba Aligo gy'asulamu wamu ne bazzuku

WORLD POPULATION DAY: Abant...

KU Lwomukaaga nga July 7 lunaku lwa nsi yonna olw’obungi bw’abantu era eggulo we lwatuukidde nga mu Uganda mulimu...