TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Zari bamusanze alya obulamu ne mukwano gwa Ssemwanga: Muninkini we awanda muliro!

Zari bamusanze alya obulamu ne mukwano gwa Ssemwanga: Muninkini we awanda muliro!

Added 13th June 2017

OMUSAJJA eyasangiddwa ng’alya obulamu ne Zari e South Afrika agambye nti yabadde amubeesabeesa kumumalako nnaku ya Ivan Ssemwanga.

Obubaka Diamond bwe yatadde ku mukutu gwe ogwa Instragram, kw'asinga okubeera. Ku ddyo, Zari ne Diamond Platinumz nga bali mu mapenzi gye buvuddeko.

Obubaka Diamond bwe yatadde ku mukutu gwe ogwa Instragram, kw'asinga okubeera. Ku ddyo, Zari ne Diamond Platinumz nga bali mu mapenzi gye buvuddeko.

Ate Zari ayanukudde:

abagamba nti twagalana ebyo bya kisiru. Ono Edwin Lutaaya muganda wa Ssemwanga. Siri ‘cheap’ kukola ebyo (ekitegeeza siri wa layisi).

Ku Ssande, Zari yakubiddwa ebifaananyi ng’ali ne Lutaaya mu mazzi bawuga mu kifo kya Soultic Spa e Pretoria mu South Afrika. Mu kimu ku bifaananyi, Lutaaya yalabise ng’ayisizza omukono alinga anyonyoogera Zari.

Kino kyatabudde muninkini wa Zari ayitibwa Diamond Platinumz n’assa ebifaananyi ku mukutu gwe ogwa Instagram n’ateekako ebigambo: mumulaba Zari. Nange olumu kyenva nkwana kubanga ne munnange teyeewa kitiibwa.

Lutaaya, muyimbi mu kibiina kya New Chapters Africa ekiyimbira mu Uganda ne South Afrika.

Y’omu ku baaliwo mu kuziika Ssemwanga e Kayunga nga May 30.

Lutaaya yagambye nti kuva dda nga bamanyiganye ne Zari. Ku Ssande yabadde ava kusaba mu kkanisa ya Rhema Bible Church e Randburg mu kibuga Pretoria ne basalawo ne famire ye bagende basanyuke mu kifo kya Soultic Spa. Eno Zari gye yabasanze.

“Twawuze nga mbuulirira Zari ebigambo ebimugumya,” Lutaaya bwe yagambye.

Bukedde yamubuuzizza:

Ggwe atalina kigendererwa kikyamu lwaki wakutte Zari ku kabina?

Lutaaya:

Olumu bw’obeera owuga kizibu okwewala okukoona ku muntu. Nnabadde mubeesabeesa aggweeko ekiwuubaalo ky’okufiirwa. Kino nakyo kulinga kukubagiza nga bw’obeesabeesa afiiriddwa.

Lutaaya agamba nti bwe baavudde awo, ye ne famire ye ne bagenda ewaabwe e Greenstone mu Johannesberg ate Zari n’agenda ewuwe e Pretoria n’abaana be.

Abantu baayanguye okuvumirira ekikolwa kino nti Zari yandirinzeeko Ssemwanga n’avunda n’alyoka apepeya n’abasajja.

Mu ssaawa nga mukaaga oluvannyuma lw’okussaayo ebifaananyi bino byabadde bifunye abantu 30,000 ababyogerako. Zari yagambye; abantu tebakoowa kwogera.

Lutaaya kizibwe wa Ssemwanga, abaana bange bamumanyi. Abatanjagala buli kiseera bannoonyako bibi.

Kino kintu kitono kyokka kiwaawadde era bangi ne bakikkiriza.

Mmanyi waliwo abategeevu abatajja kukitwala nga nsonga naye abalala baliwo kukuliriza!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu