TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • CAO wa Wakiso aggaliddwa lwa kulemererwa kulaga nsasaanya

CAO wa Wakiso aggaliddwa lwa kulemererwa kulaga nsasaanya

Added 13th June 2017

AKULIRA abakozi ba Gavumenti (CAO) mu disitulikiti y’e Wakiso n’akulira okugula ebintu, baggaliddwa lwa kulemererwa kulaga nsaasaanya.

 Owapoliisi ng’awerekera CAO, Lokuda okugenda ku poliisi e Mukono.

Owapoliisi ng’awerekera CAO, Lokuda okugenda ku poliisi e Mukono.

CAO, Luke Lokuda n’akulira okugula ebintu baggaliddwa ku poliisi e Mukono oluvannyuma lw’okulemwa okulaga ensaasaanya ennuhhamu ku nsimbi za gavumenti.

Bano baalabiseeko mu kakiiko ka palamenti akalondoola ensaasaanya y’ensimbi za gavumenti ezeebitundu aka Parliamentary Local Government Accounts Committee akaatudde ku kitebe kya disitulikiti y’e Mukono ku Mmande.

Akakiiko kano akakulirwa omubaka Reagan Okumu owa Aswa, katuulako ababaka okuli; Fred Angella owa Moroto Municipality, Gordon Bafaki owa Kazo, Robina Hope Mukisa owa Namayingo, Joseph Ssekabiito owa Mawogola, Spellanza Baguma owa Kyenjojo disitulikiti n’abalala. Bano baawulirizza disitulikiti okuli Mukono ne Wakiso, munisipaali okuli Kira, Entebbe ne Mukono.

Kyaddiridde omubalirizi w’ebitabo bya gavumenti okwekebejja esaasaanya y’ensimbi n’engeri gye baakolamu emirimu mu mwaka gw’ebyensimbi 2015/16.

Lipoota yalaze nga disitulikiti y’e Wakiso yasasula omusaala ogusoba mu gwali gusaanidde okusasulwa abakozi oguwera obukadde 103.

Mu kusooka, Lokuda ng’ali n’omubalirizi w’ebitabo bya Gavumenti, yakkirizza ensobi eyo era n’asuubiza okusasula ensimbi ezo ku bakozi abo kyokka ate bwe yalabiseeko mu kakiiko ka palamenti yabyegaanyi n’agamba nti ensimbi ezo abakozi abo tebaazitwala!

Kyokka ono yakubaganye empawa n’ow’ebyensimbi owa disitulikiti, Micheal Ssekandi eyategeezezza nti baatandika dda okusala ku bakozi abo ensimbi zino.

Lipoota era eraga nti disitulikiti y’e Wakiso yagenda mu maaso n’okusasula omusaala abakozi abaali tebakyakola ne babawa omusaala gwa bukadde 58.

Abamu ku baasasulwa baali bakaddiye nga tebateekwa kusasulwa, abamu nga baakyusibwa ne batwalibwa mu bifo ebirala ate abalala nga baafa!

LOKUDA AKKIRIZZA ENSOBI

Lokuda yakkirizza ensobi eno oluvannyuma lw’okukuba ebirayiro ebyabadde bimukugira okwogera obulimba eri akakiiko.

Yagambye nti bagenda kusasuza abantu bano ensimbi zino okuva ku busiimo kyokka abataafuna busiimo, ensimbi ze baafuna mu bukyamu zigenda kusalibwa ku bakulira ebitongole eby’enjawulo abaali bavunaanyizibwa ku bakozi bano.

Bano babalanga butategeeza minisitule y’abakozi okusangula amannya g’abakozi abo ku nkalala okufunirwa omusaala.

Lokuda yasabye emyezi mukaaga okuba ng’ensimbi zino ziwedde okusasulwa.

Omubalirizi w’ebitabo era yakizuula nti mu mwaka gw’ebyensimbi 2015/16, disitulikiti y’e Wakiso yawandiika abakozi 51 mu bukyamu oluvannyuma lw’obutagoberera mateeka okuli okulanga mu mpapula z’amawulire oba okutegeeza abali munda mu disitulikiti mu bulambulukufu.

Yagambye nti ekikolwa kino kyalemesa abantu abalina obukugu obwali bwetaagisa okuvuganya ku mirimu gino, nga kino kyali kikyamu.

Lokuda ne Mayanja baatwaliddwa ku poliisi e Mukono gye baggaliddwa okumala ebbanga ne baggyibwako siteetimenti kyokka obudde bwe bwawungedde baabatadde.

Okumu yategeezezza nti bo ng’akakiiko tebalina muntu gwe baluubirira kutulugunya wabula baagala bulambulukufu mu nsaasaanya y’ensimbi n’okulaba ng’emirimu gikolebwa bulungi. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...