TOP

Bakubye ebituli mu bajeti eyasomeddwa

Added 14th June 2017

KATIKKIRO wa Buganda eyawummula, Daniel Muliika ne Victoria Ssekitooleko eyaliko minisita w’ebyobulimi n’obulunzi bakubye ebituli mu mbalirira y’eggwanga eyasomeddwa wiiki ewedde nga bagamba nti gavumenti teyakoze kunoonyereza kumala ku bintu ebimu.

 Abamu ku baabadde mu kukubaganya ebirowoozo ku Bajeti eggulo. Owookubiri ku kkono ye Kato Lubwama, addiriddwa meeya wa Lubaga Joyce Ssebuggwawo n’eyali Katikkiro Muliika.

Abamu ku baabadde mu kukubaganya ebirowoozo ku Bajeti eggulo. Owookubiri ku kkono ye Kato Lubwama, addiriddwa meeya wa Lubaga Joyce Ssebuggwawo n’eyali Katikkiro Muliika.

Muliika agamba nti gavumenti teyavuddeyo kulaga bannansi ku nkola yaayo mu mwaka gw’ebyensimbi omukadde ssaako n’okusoomoozebwa kwe yasanze mu kutuukiriza ennyingiza n’ensaasaanya n’amagezi agasaliddwa okubuvvuunuka.

Ye Muky. Ssekitooleko yagambye nti gavumenti okuvaayo n’eggyawo emisolo ku bibiina ebiwozi by’ensimbi ebya SACCO n’etefaayo ku bibiina eby’obwegassi ebirina okuyimirizaawo eggwanga mu byenfuna yabadde nsobi ya maanyi.

Yagambye nti gavumenti obutabaako w’eyogerera ku kawuka akalya kasooli (Army warm) mu ngeri ey’enjawulo mu mbalirira y’eggwanga eya 2017/18 kyabadde kikyamu kuba kasooli afuuse ekirime ekiyimirizaawo eggwanga mu mmere n’okuggyamu ensimbi.

Bino byatuukiddwaako mu kukubaganya ebirowoozo ku mbalirira y’eggwanga eyasomeddwa wiiki ewedde. Okukubaganya ebirowoozo kwabadde ku Hotel Africana ku Mmande.

Minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija yagambye nti obuzibu obuli mu Uganda obusinga buva ku bugayaavu kuba Katonda eggwanga yaliwa ettaka ejjimu okusobola okudda kumpi buli kirime.

Yagambye nti gavumenti essira egenda kulissa ku kuyunga ebyobulimi n’amakolero era y’emu ku nsonga lwaki ebimu ku bintu ebyeyambisibwa mu makolero ne mu byobulimi byaggyiddwaako omusolo.

Doris Akol, akulira ekitongole ky’ebyemisolo ekya URA yagambye nti bakola kyonna ekisoboka okulaba nga buli muntu alina ky’akola awa omusolo ogumugwanidde, kitaase abantu ab’omuswaba abaguwa ate nga bakola emirimu kumpi gye gimu.

Everest Kayondo, ssentebe w’abasuubuzi ba KACITA yagambye nti gavumenti okuleka bannannyini bizimbe okusasuza abapangisa ssente za lenti mu ddoola, kinyigiriza omuntu wa wansi.

Ekirala gavumenti tefuddeeyo kulondoola nsonga y’abapangisa abataweebwa lisiiti nga basasudde, kiremesa URA okumanya ssente abasuubuzi ze basaasaanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...