TOP

Eyatta bba olw'okumukaka omukwano yejjeerezeddwa

Added 20th June 2017

OMULAMUZI Margaret Mutonyi owa Kkooti Enkulu etuula e Mukono yejjeerezza omukazi abadde avunaanibwa omusango gw’okutta bba n’asaba Gavumenti ekole ennongoosereza mu tteeka erikugira abasajja okukaka bakyala baabwe omukwano.

 Kyozira nga yaakayimbulwa. EBIFAANANYI BYA ERIC YIGA

Kyozira nga yaakayimbulwa. EBIFAANANYI BYA ERIC YIGA

BYA ERIC YIGA

Alaisha Kyozira 21, ye yejjeerezeddwa ku musango gw’okutta eyali bba Yazid Kyeyune eyali amanyiddwa nga Mulinde, nga August 21, 2014 ku kyalo Bbaale mu ggombolola y’e Bbaale e Kayunga.

Kyozira azaalibwa e Namwendwa mu Busoga, oludda oluwaabi olwabadde lukulembeddwaamu Gloria Nansubuga lwategeezezza kkooti nti yatta bba gwe yali alinamu abaana basatu mu kiro kya August 21, 2014 mu nnyumba yaabwe.

Kyokka Robert Nazambe munnamateeka eyabadde awolereza Kyozira yategeezezza omulamuzi nti, omuntu we omusango teyaguzza mu bugenderevu yali yeetaasa ku bba eyali amukaka omukwano ng’akyali nnakawere wa lukindo.

Kyozira yagambye kkooti nti, yali yaakamala okulongoosebwamu omwana era bwe yadda awaka ne basalawo ne bba asule wansi w’abeera ayonseza omwana n’okunyiga ebiwundu by’ekiso.

Yagambye nti, mu kiro ng’ayonsa, Kyeyune yatabuka n’amulumba we yali yeebase ng’ayagala banyumye akaboozi ku mpaka, mu butanwa nga yerwanako omusajja n’afa wabula teyamutta mu bugenderevu.

Omulamuzi Margaret Mutonyi owa Kkooti Enkulu etuula e Mukono eyejjeerezza omukazi abadde avunaanibwa omusango gw’okutta bba

 

Yagambye nti, olukindo lwali lukyali lubisi. Okunnyonnyola kwa Kyozira kwakwasizza omulamuzi ennaku era ekyaddiridde kwe kusala nti, ‘omuvunaanibwa tegumusinga’.

Kyozira abadde amaze ku limanda e Luzira emyaka ebiri n’emyezi 9 okuva lwe yakwatibwa era omulamuzi bwe yamwejjeerezza n’afuna akaseko ku matama era n’amulagira nti ‘genda otandike obulamu obupya’.

Omulamuzi Mutonyi yagasseeko nti enjuyi zombi zaabadde zikkiriziganyizza nti mu byabadde bizuuliddwa, Kyozira omusango tegumusinga era naye kwe yasinzidde okuwa ensala.

“Gavumenti esaanye okwogeramu amaanyi mu tteeka lya ‘Marital Rape’ kubanga abakyala bangi mu maka batulugunyizibwa abaami baabwe mu nsonga z’akaboozi nga tebeeyagalidde.

Bwe linaakolebwako ennongoosereza ne liteekebwa mu nkola lijja kugasa abakyala bangi.” Mutonyi bwe yagambye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...