TOP

Omukozi w'ebbaala afudde mu ngeri etategeerekeka

Added 20th June 2017

ABAKOZI b'ebbaala ya Happys Bar Pork Joint, esangibwa mu Kyengera tawuni kanso mu disitulikiti y'e Wakiso, bakubiddwa enkucwe olw'engeri munnaabwe gy'afuddemu.

 Omulambo gwa Alice nga gussibwa ku kabangali ya Poliisi okutwalibwa mu ddwaaliro e Mulago okwongera okwekebejjebwa. EKIF: VICENT KATO

Omulambo gwa Alice nga gussibwa ku kabangali ya Poliisi okutwalibwa mu ddwaaliro e Mulago okwongera okwekebejjebwa. EKIF: VICENT KATO

ABAKOZI b'ebbaala ya Happys Bar Pork Joint, esangibwa mu Kyengera tawuni kanso mu disitulikiti y'e Wakiso, bakubiddwa enkucwe olw'engeri munnaabwe gy'afuddemu.
 
Afudde ategeerekeseko Alice ng'atemera mu myaka 20.
Okusinziira ku bakozi banne abaaganye okwatuukiriza amannya gaabwe, bagambye nti baalabye munnaabwe ng'embeera gy'alimu ssi nnungi ne bamusitula okuggya mu kazigo mw'abadde asula ne bamutwala mu ddwaliro lya Musasizi Community Health Centre e Buddo wabula okutuukayo abasawo ne bakatatema nti basitudde mulambo, oli yafudde dda!
 
Omugenzi abadde yaakafuna omulimu mu bbaala eno ennaku ssatu emabega, teri n'omu amanyi gye yava na buzaale bwe.
 
OC atwal poliisi y'e Buddo, Grace Kiroro ategeezezza nti bayitiddwa ab'eddwaaliro okuggyayo omulambo gwa Alice eyafudde ng'atwalibwa mu ddwaaliro era omulambo gutikkiddwa ku kabangali ya Poliisi ne gutwalibwa mu ddwaaliro e Mulago abasawo okwongera okwekebejja omulambo okuzuula ekyamusse.
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssentebe Sserunjogi ng'alaga olukalala oluliko abantu be yagobye.

Ssentebe agobye abakulembez...

Ssentebe w'e Bujuuko agobye abakulembeze ku lukiiko lwe lwa kumutyoboola mu bantu. Francis Sserunjogi ow'e Bujuuko-...

Omugagga Dodoviko Mwanje ( ku kkono ) ng'ali ku kkooti e Kololo ne SSP Rashid Agero.

Okuwulira omusango oguvaanw...

WADDE nga gavumenti yamaliriza okunoonyereza ku musango oguvunaanibwa omugagga Dodovico Mwanje amanyiddwa nga Dodo...

Kityo eyakuliddemu enteekateeka y'ekyoto ng'ayogera.

''Ababuvuka mugondore amate...

OMWAMI wa Kabaka atwala eggombolola y'e Nsangi, Wasswa Mathias Kutanwa asabye abavubuka okuba abasaale mu kulwanyisa...

Abamu ku baana abaafudde.

Poliisi eyingidde mu by'aba...

POLIISI mu disitulikiti y'e Rakai eyingidde mu kunoonyereza ku kituufu ekyaviiriddeko abaana aba famire emu, abataano...

Brenda Nairuba ng’apooca mu ddwaaliro ly’e Kamuli-Mulago.

Bba amutemye lwa kumumma ma...

Maama wa bbebi ow'emyezi ebiri apooca. Ali ku kitanda mu ddwaaliro ly'e Kamuli-Mulago ekkulu oluvannyuma lwa bba...