TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Yeefudde omusosodooti n'afera owa Poliisi obukadde 50!

Yeefudde omusosodooti n'afera owa Poliisi obukadde 50!

Added 22nd June 2017

POLIISI ekutte omusajja eyeefudde Omusosodooti w’Eklezia n’afera omuserikale wa poliisi obukadde 50 ng’amulimbye nti agenda kumuyamba okumuyingiriza ebyamaguzi mu ggwanga.

 Kambale ng’ali n’owapoliisi.

Kambale ng’ali n’owapoliisi.

Vincent Kambale yakwatiddwa bambega ku kitebe kya poliisi e Kibuli oluvannyuma lw’omuserikale ASP Joseph Michael Okwadi Tukei akolera mu kitongole kya poliisi eky’ebyobulamu okutegeeza nga bwe yamulimba nti agenda kumukolera ku nsonga z’okuyingiza ebintu bye yali asuubira okuva ebweru w’eggwanga.

Omwogezi wa poliisi avunaanyizibwa ku kitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Vincent Ssekate yagambye nti ASP Okwadi okukwatagana ne Kambale, waliwo omusaabaze gwe yasanga mu bbaasi ng’agenda e Fort Portal eyamweyanjulira nga Papa Ragi Mukoka eyamumuyungako.

Yagambye nti Mukoka yayanjula Okwadi eyeeyita Fr. Mate akolera mu kigo ky’e Namugongo n’amulimba nga bw’avunaanyizibwa ku kuyingiza ebintu by’Eklezia byonna mu kitundu kya East Afrika era mu kumusisinkana yali ayambadde ebyambalo ebiraga nti Faaza.

Yategeezezza nti ASP Okwadi yali alowooza nti akolagana n’omuntu omutuufu kuba Kambale yali ayambadde nga faaza, n’akwata ssente n’azimuwa kuba yali asuubira ebintu okuva e Germany ne China mu mikwano gye.

Agattako nti Kambale olwafuna ssente, n’abula. Abaserikale baalondodde Kambale ne bamukwatira e Ndejje mu Wakiso.

Bwe baayazizza ennyumba ye, baasanzeeyo kaadi z’abadde akozesa ng’emu yabadde mu mannya ga Peter Byamukama nga kuliko ekifaananyi kye.

Eno yabadde eraga nti mutuuze w’oku Stella e Najjanankumbi. Baasanzeeyo ne ssente enjingirire ddoola 1000.

Kambale eyabadde akuumirwa ku poliisi ya Kira Road yalaajanye baleme kumulaga eri abaamawulire kuba abantu b’afeze bajja kumutambulirako.

Yagguddwaako omusango gw’okweyita ky’atali n’okufuna ssente mu lukujjukujju egiri ku fayiro nnamba SD 14/31/05/2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mukyala Nsegumire nga yeetondera Mboize.

Aba NRM mu Kampala beeyuliz...

Olukiiko olwayitiddwa okutabaganya abeesimbyewo ku kkaadi y’ekibiina kya NRM mu Kampala Central n’abo baamegga...

Mwine Mukono

Mwine alina emisango mu kkooti

OMUBAKA wa munisipaali ya Mityana, Francis Zaake yaloopa DPC Mwine Mukono ne banne okuli RPC Kagarura n’abalala...

Mwine ng'ayogera eri abatuuze b'e Mityana abaali beekalakaasa.

Ebikolobero ebizze birondoo...

ABADDE aduumira Poliisi y’e Mityana, Alex Mwine Mukono eyaduumidde abaakubye ttiyaggaasi mu bannaddiini n’abeekika...

Ssentamu ng'asiiga langi ku ddame.

Bayize okukola ebitimbibwak...

HADIJAH Ssentamu akozesezza ekiseera ky’obulwadde bwa ssennyiga omukambwe okugatta obwongo n’abaako ky’ayiiya....

Ono oluggya yaluteekamu ebitebe abantu we bawummulira.

Engeri gy'osobola okukola s...

Oluggya bwe lusukka mu lumu ziba ziyitibwa empya era ebimu ku byafaayo byalwo mu Uganda lubadde lwakwewunda nga...