TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Basonze obukadde 15 okuzzaawo oluguudo olwaliibwa ekitoogo

Basonze obukadde 15 okuzzaawo oluguudo olwaliibwa ekitoogo

Added 22nd June 2017

OBUKADDE bw'ensimbi 15 bwe busondedwa mu mpeke okuzzaawo oluguudo olwaliibwa ekitoogo e Rakai.

 Omubaka w'essaza ly'e Buyamba mu Palamenti Amos Mandera ng'ayogerako eri abatuuze. EKIF: PASCAL LUTABI

Omubaka w'essaza ly'e Buyamba mu Palamenti Amos Mandera ng'ayogerako eri abatuuze. EKIF: PASCAL LUTABI

BYA PASCAL LUTABI

OBUKADDE bw'ensimbi 15 bwe busondedwa mu mpeke okuzzaawo oluguudo olwaliibwa ekitoogo e Rakai.

Omubaka w'essaza ly'e Buyamba mu Palamenti Amos Mandera n'owa Bukoto Midwest, Abdul Kitatta be baasonze ensimbi zino okuzzaawo oluguudo olugatta ekyalo Kabusoota 'A' mu muluka gw'e Kabusoota mu ggomboloola y'e Lwamaggwa mu Rakai n'ekyalo Lubaale mu muluka gw'e Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga e Lwengo.

Omubaka Mandera ategeezezza nti oluguudo luno oluyitibwa Kabusoota - Lubaale luliko kkirommita emu kyokka ennyanja Kachera yalulya. Mandera ategeezezza nti oluguudo luno luyamba abatuuze ku byalo okuli; Ndeeba, Kabusoota okutuukira ddala mu disitulikiti y'e Isingiro eva amatooke okujja e Kyazanga we gava okutuuka mu Kampala. Kitatta ayambalide abatuuze abalina amayumba ku kkubo obutakola bulungibwansi nti baakubonerezebwa.

Asabye ababaka banne okubegatako bakulaakulanye ekitundu kyabwe nga batandikira ku luguudo luno nti lugenda kwongera ku nfuna y'eggombolola.

Abatuuze bennyini okuva e Rakai ne Lwengo be bagenda okusooka okusaggula empenda z'ekkubo lino n'oluvannyuma ebimotoka bibayambeko omulimu guggwe ekkubo litandike okukola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.