TOP

Bobi Wine yeenywezezza mu kalulu k'e Kyaddondo

Added 22nd June 2017

BOBI Wine ayongedde okwenyweza n’okukyusa engeri gy’awenjaamu akalulu mu nnaku zino ezisembayo. Ebimotoka lukululana yabiwummuzza.

 Bobi Wine nga bamuva ku pikipiki okuwenja akalulu

Bobi Wine nga bamuva ku pikipiki okuwenja akalulu

Bya RONALD MUGENYI, S. TEBUSEEKE, REGINAH NALUNGA NE MOSES NYANZI

Kati bw’aba agenda awantu nga gye yabadde mu muluka gw’e Gayaza eggulo, wasookayo mmotoka ye ebwatuka olwo ye n’ajjira mu mmotoka ya Ssentebe wa Town Council y’e Kasangati, Tonny Sempebwa Kiyimba.

Takyasigala mu mmotoka nga bw’abadde akola emabegako, kati olutuuka mu bubuga awali abantu ng’atambula ababuuza omu kwomu.

Okwo agattako okugenda ng’abonga n’oluyimba lwe olwa ‘Bikwase Kyagulanyi … (lugenda mu maaso ku bidongo) …. Bannakyaddondo essaawa yeeno.

Gayaza muwulidde? Kasangati muwulidde … n’okweyongerayo. Apollo Kantinti naye oluyimba yaleese olupya: Omwana waakuno Kantinti lwayimbiddwa Inspector Jo (Ssemakula George William) era eggulo lwe yakulembezezza ng’akuba kampeyini e Wampeewo.

Muno yataddewo ebigambo nti ye mwana wa mu kitundu mwe bamuziika.

Kantinti (ku kkono) ng’alaga abawagizi be ekimu ku bipande bye ebyayuziddwa mu muluka gw’e Wampeewo.

Eggulo enkambi ya Sitenda Ssebalu yasiibye ekunga abantu nga babagamba nti pulezidenti Museveni ajja ne Maama Fiina basumulule ekikapu.

Sitenda Ssebalu yasiibye akuyega abantu bajje okwaniriza Pulezidenti Museveni agenda okubeera e Wampeewo ku kisaawe.

Muwada Nkunnyingi ne Dr. Sowedi Kayongo baabadde bawummuddemu.

Bino nga bigenda mu maaso, effujjo lyeyongedde okweyoleka mu kalulu ka Kyaddondo East akagenda okukubibwa ku Lwokuna wiiki ejja June 29, 2017.

Ebipadde bya Kantinti waliwo abaabiyuzizza ku Lwokubiri ekiro okuva ku Musanvu ku lw’e Gayaza, Kasangati, Gayaza, Wampeewo ne Kabubbu.

Yasabye abawagizi be okubeera abakkakkamu. Emabegako abawagizi ba Sitenda Sebalu ne Bobi Wine baawaanyisiganya ebigambo era baabuzeeko katono okugwahhana mu malaka bwe baasisinkanye e Nangabo.

Kyokka ekirungi tebaalwanye wadde baayombye n’okwerangira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.