TOP

Okuwa abaana b'oku nguudo ssente gufuuse musango

Added 22nd June 2017

ETTEEKA ly’okukwata n’okukangavvula abantu abasangibwa nga bawa abaana b’oku nguudo ssente n’ebyokulya ligguse.

 Abamu ku baana abasabiriza ku nguudo z'omu Kampala. EKIF: MUWANGA KAKOOZA

Abamu ku baana abasabiriza ku nguudo z'omu Kampala. EKIF: MUWANGA KAKOOZA

ETTEEKA ly’okukwata n’okukangavvula abantu abasangibwa nga bawa abaana b’oku nguudo ssente  n’ebyokulya ligguse.

Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategeezezza nti ekitongole ekivunaanyizibwa kuddukanya ekibuga Kampala , ekya KCCA , kiri mu kulongoosa mateeka era essaawa yonna kigenda kufulumya etteeka erigenda okukwata n’okukangavvula abantu bonna abanasangibwa nga bawa abaana b’oku nguudo ssente n’ebyokulya.

Kiyingi bino abitegeezezza mu lukung’ana lwa bannamawulire lwatuuzizza ku kitongole ekivunaanyizibwa ku kulondoola abaana abatulugunyizibwa ekya ‘Uganda Child Help line’ ekisangibwa e Kireka ku lw’e Jinja.

Gavumenti yassaawo essimu etali ya kusasulira eya 116 omuntu gy’asobola okukubako okuloopa atulugunya abaana.

Era ekitongole ky’ensi yonna ekivunaanyizibwa ku mbeera z’abaana UNICEF  ekyakikiriddwa  Augustine Wassago kwe kiwereddeyo pikipiki 16 ziyambe mu kulwanyisa abatyoboola eddembe ly’abaana mu disitulikiti eziwerako okuli ne Wakiso.

Nakiwala Kiyingi  agambye nti okuwa abaana b’oku nguudo ssente n’ebyokulya kibalemezaako n’okusikiriza abalala okujja. N’agamba nti abalina obuyambi basanidde kubutwala mu bifo ebitongole awalabirirwa abaana sso ssi kubibaweera ku nguudo.

Akubirizza abazadde okwewala obutabanguko mu maka ng’agamba nti kye kimu ku bivaako abaana okugenda ku nguudo. N’akubiriza bataata okukwatagana ne bakazi baabwe okukuza abaana.

Abaana 8,000 be bali ku nguudo  z’omu bibuga mu Uganda nga 4,000 bali mu Kampala wokka. Akubirizza abakazi okussa ekitiibwa mu ba bba baabwe kikom obutabanguko.

Kaminsona w’embeera z’abaana Kyateka Mondo agambye nti  buli ssomero lya gavumenti erya pulayimale ligenda kutandika okubaaako nasale omulimu guleme kulekerwa bantu ssikinomu nga bwe guli kati.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...