TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Bakunyizza eyasinga okugabana ettaka ly'ebibira e Wakiso n'awaayo Ian Kyeyune

Bakunyizza eyasinga okugabana ettaka ly'ebibira e Wakiso n'awaayo Ian Kyeyune

Added 22nd June 2017

HAJJI Harunah Ssemakula 45, eyasinga okugabana ettaka ly’ebibira e Wakiso, ayanise RDC Ian Kyeyune mu kakiiko k’ettaka nti ye yamuyambako okufuna ebyapa 43 ku ttaka lino!

 RDC Kyeyune (ku kkono) nga bimusobedde. Ku ddyo ye munnamateeka Wandera ne Ssemakula (atali mu ttaayi).

RDC Kyeyune (ku kkono) nga bimusobedde. Ku ddyo ye munnamateeka Wandera ne Ssemakula (atali mu ttaayi).

HAJJI Harunah Ssemakula 45, eyasinga okugabana ettaka ly’ebibira e Wakiso, ayanise RDC Ian Kyeyune mu kakiiko k’ettaka nti ye yamuyambako okufuna ebyapa 43 ku ttaka lino!

Ssemakula nnannyini kkampuni ya Zaisaf Investments Ltd, yategeezezza Omulamuzi Catherine Bamugemereire akulira akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka nti ye musuubuzi wa ttaka n’ebyamaguzi ebirala.

Ekibira ky’e Nonve mu Wakiso yakigulako yiika 600 ku 3,200,000/- mu 2000.

Wabula yagambye nti ye yagula kibanja ku John Bosco Tebandeke kyokka tebaakipima.

Mu kuteebereza kwe, kyali kiweza yiika wakati wa 160 ne 180 era yagambye nti mukwano gwe Edward Mubiru ye yamutuusa ku Tebandeke.

Okugenda mu kakiiko, yawerekeddwaako munnamateeka we David Oundo Wandera.

Munnamateeka w’akakiiko Ebert Byenkya yabuuzizza Ssemakula annyonnyole obugazi bw’ettaka ly’alina ku bbulooka 226 ne 228.

Yayanukudde nti alinako ebyapa bibiri ekimu kiriko yiika 64 ekirala 14.

Bwe waayiseewo akaseera ate n’ategeeza nti ekyapa ekirala kya yiika 16, bwatyo ne yeekuba endobo.

Omulamuzi Bamugemereire yamutegeezezza nti obujulizi bwe balina ku yiika z’ekibira kyonna 700, Ssemakula yafunako yiika 600.

AYANIKA IAN KYEYUNE

RDC wa Wakiso Ian Kyeyune bwe yabadde mu kakiiko kano ku Lwokubiri, yategeezezza nti ye okufuna ku ttaka ly’ekibira ky’e Nonve, kkojja we Ssemakula ye yamugabirako yiika 41.

Wabula Ssemakula yategeezezza nti Kyeyune amuyita kkojja kubanga nnyina yeddira Lugave naye tebalina luganda lusukka awo. Ssemakula yannyonnyodde nti Ian Kyeyune bwe yava mu kalulu ka 2011 n’amutuukirira ng’amusaba amuwole ssente.

Yamutegeeza nti yali talinaawo ssente kyokka yalina ekibanja e Buwanuka (Nonve) n’amutegeeza nti bw’afuna omuguzi ajja kusobola okumufunirako ssente amalirize ebizibu bye.

Kyeyune yakulembera Ssemakula n’amutwala ewa Joseph Batume akulira abapunta e Wakiso n’asaba amukolere ku nsonga y’okufuna ebyapa.

Batume yatwala Ssemakula ewa Andrew Fredrick Kavuma eyali ssentebe w’akakiiko k’ettaka ak’e Katabi ne batandika okumukolera ku mitendera gy’okufuna ebyapa.

Batume yamulagira amutwalire omupunta gw’akozesa kwe kumulaga Gerald Muna gwe yalagira awandiike ng’asaba okupunta ettaka lino era ne kikolebwa okutuusa lwe baafuna ebyapa.

OMULAMUZI AYISIZZA EKIRAGIRO KU KAVUMA YEEYANJULE

Byenkya yategeezezza Omulamuzi nti baagezezzaako okuyita Kavuma ajje awe obujulizi mu kakiiko n’adduka kwe kusaba Omulamuzi Bamugemereire ayise ekiragiro naye n’akikolerawo.

Alabudde nti ssinga ajeema, waakuyisa ekiragiro ekirala poliisi emunoonye waakiri emuleetere ku mpingu.

Omulamuzi yasoose kubuuza Ssemakula obuyigirize bwe n’ategeeza nti yakoma mu P7.

Yamulagidde ayogere omuwendo gwe yasasula Batume alyoke amugemulire ettaka ly’ekibira n’alayira nti ye yabadde asiibye nga tayinza kulimba; “Sirina ssente ze nawa Batume.”

Omulamuzi yategeezezza nti tewali ali waggulu w’amateeka, bagenda kuzuukusa fayiro eno buli eyeenyigira mu kugituulako bamukoleko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...