TOP

Embeera ya Ssebaana Kizito ebizze

Added 23rd June 2017

EMBEERA ya Ssebaana Kizito eyongedde okweraliikiriza abantu be, bannabyabufuzi ne Bannayuganda okutwaliza awamu era we bwazibidde eggulo ng’ali bubi ddala.

 Ssebaana Kizito

Ssebaana Kizito

Okuva mu ttuntu ly’olunaku lw’eggulo (Lwakuna) abantu ab’enjawulo obwedda beetala ku ddwaaliro ly’e Nakasero mw’ali okwongera okulaba embeera.

Kino kyaddiridde amawulire okusaasana nga gamubika. Kyokka buli obwedda amala okumulabako ng’avaayo akotese omutwe ssaako n’okumukwasa Katonda nti … mukadde waffe asaana ssaala zaffe!

Mu bano mwabaddemu Loodi meeya Erias Lukwago, abakozi okuva mu kkampuni ya Ssebaana eya Yinsuwa emanyiddwa nga Swico, Ssentebe wa DP e Makindye era omumyuka wa loodi meeya Sarah Kanyike, abakulembeze ba DP okuva e Lubaga nga baabadde bakulembeddwa Kwatakunsawoyo Kiwanuka, abakulembeze okuva e Kawempe, Nakawa n’awalala.

Abasawo baategeezezza nti embeera ya Ssebaana yeeraliikiriza kuba bwe yakubwa obulwadde bw’okusannyalala (stroke), bw’atwaliramu ekitundu ky’obwongo ekimu nti kyokka we bwakeeredde ku Lwokuna nga n’ekitundu ekyokubiri eky’obwongo nakyo kisannyaladde.

Kyokka baabadde bakyalina okukkiriza nti bajja kukola ekisoboka nga bayambibwako ne Katonda okutaasa obulamu bwa Ssebaana Kizito.

Embeera gye yabaddemu olw’eggulo nga teyeenyeenya, talaba era nga tawulira biri ku nsi era yabadde assiddwa ku byuma ebyabadde bisuukunda n’okuyamba ku mubiri okuddamu amaanyi gusobole okuyingizibwamu eddagala.

Omwogezi wa DP, Kenneth Paul Kakande y’omu ku bakkkiriziddwa okumulaba n’abamu ku bakulembeze ba DP mu Kampala kyokka baavuddeyo nga bagamba nti akyali munafu.

“Tumulabye kyokka era tewali nnyo kyetuyinza kunnyonnyola. Tayogera era ndowooza tatutegedde kubanga akyali mu mbeera etanasanyusa.

Yategeezezza nti abasawo tebannaba kukkiriza bantu kumulaba kubanga era tasobola kwogera nabo . Akyali mu kasenge k’abalwadde abali obubi.

Yagambye nti Katonda ye nnannyini byonna asobodde okumala emyaka 83 ng’amukuumye era y’asobola okumuzzaamu amaanyi n’atambula. Omu ku bazzukulu, Denis Kaswabuli y’amuliko era gw’asinga okwesiga nga tamuva ku lusegere.

Y’akkiriza abantu mikwano gya Ssebaana ennyo mu byobufuzi n’embeera yonna okuyingira okumulabako. Ssebaana yatwaliddwa ku Mmande mu ddwaaliro ly’e Nakasero ng’ali mu mbeera mbi.

Yabadde tayogera wadde okutegeera abamu ku bantu kyokka abamujjanjaba bagamba nti kati embeera egenda ekyukamu. Kyokka bangi ku baabadde bagenze okumulaba tebaasobodde okuggyako abalondemu.

Ssebaana yasooka kusannyalala oludda lwe olwa ddyo era abadde takyasobola kwetengerera yekka kutambula. Kaswabuli y’amutambulirako buli waagenda okumuwanirira.

Gye buvuddeko abakulembeze b’ekibiina kya KACITA abakulemberwa Everest Kayondo baamukyalira ne bamuwa ebbaluwa emwebaza emirimu gyakoledde eggwanga naddala abasuubuzi mu Kampala.

“Ssebaana ye yali emmanduso y’enkulaakulana ya Kampala bwe yakwaata ettaka n’aliwa bannansi naddala abasuubuzi bazimbe Kampala era bangi baagaggawala ssaako n’okukyusa Kampala.

Tetusobola kumwerabira kubanga yali musuubuzi munnaffe ate akoleredde eggwanga lino.

Yazimba omwala gwa Nakivubo omunene ng’amataba gatta Bannakampala era amazzi ne gakendeera kinene,” Kayondo bwe yategeeza.

Ssebaana bwe yali annyuka emirimu gy’obwameeya bwa Kampala, abagagga baamusiima ne bamugulira mmotoka Kabangali empya ttuku emuyambe okugulira abazzukulu emmere mu butale olw’emirimu gyakoledde Kampala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...

Poliisi ng'eri e Ssembabule okukkakkanya abalonzi ba NRM mu kamyufu gye buvuddeko

Abantu 45 be baafiiridde mu...

ABANTU 45 be bafiiridde mu buzzi bw’emisango obubaddewo wiiki ewedde obulese abalala 33 mu makomera.