TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Aba famire y'omugenzi Kaweesi balemeddeko: 'Tetujja kutiisibwatiisibwa Poliisi'

Aba famire y'omugenzi Kaweesi balemeddeko: 'Tetujja kutiisibwatiisibwa Poliisi'

Added 23rd June 2017

ABOOLUGANDA b’eyali omwogezi wa Poliisi eyatemulwa Andrew Felix Kaweesi baweze nga bwe batatidde kusibwa na kutiisibwatiisibwa olw’okwogera ku bye balaba ebitatambula bulungi ku kubuuliriza ku ttemu ku muntu waabwe.

 Bagenda (owookubiri ku kkono) mwannyina Kaweesi ne muganda Ruhinda. Ku ddyo ye Vincent Kaitana.

Bagenda (owookubiri ku kkono) mwannyina Kaweesi ne muganda Ruhinda. Ku ddyo ye Vincent Kaitana.

BYA PASCAL LUTABI

Kino kyaddiridde omwogezi wa Poliisi omupya, Asan Kasingye okuvaayo n’ategeeza nga abooluganda n’abeemikwano ba Kaweesi bwe baali bajja okukwatibwa bavunaanibwe olw’ebigambo bye bagenda basamwasamwa nabyo ku musango ogwo.

Abehhanda n’abeemikwano gye buvuddeko nga bajjukira omuntu waabwe, beegatta n’abatuuze ku kyalo Kitwe Kyanjovu ne bakola bulungibwansi ku nguudo ezituuka mu maka g’omugenzi.

Bwe baamala ne bagattako n’okwogera ebigambo nti Poliisi yali tekoze kimala mu kubuuliriza kwayo ku batemu era nti yali esazeewo kugenda mu maaso ng’ekwata bantu ng’abamu ebasibako matu ga mbuzi okubaliisa engo.

Mu lukiiko abooluganda lwe baatuuzizza mu maka g’omugenzi e Kitwekyanjovu - Lwengo ku Lwokuna baakulembeddwaamu, Leo Ruhinda n’abeemikwano nga bakulembedwa, Habib Kayondo, ssentebe w’eggombolola y’e Kyazanga mu Lwego. Baategeezezza Bukedde nti bo ssi baakuva ku malamwa.

“ Ffe tetugenda kuva ku mulamwa okutuusa nga Gavumenti evuddeyo bulambalamba n’ekwata abo bennyini abatta omuntu waffe.’’

Ruhinda yayongedde n’ategeeza nti ekikolebwa buli nnaku za mwezi 17 buli mwezi kyakugenda mu maaso okujjukira omuntu waabwe eyattibwa mu bukambwe n’okusigala nga batereeza bye yali atandiseeko, gamba ng’oluguudo olwa kiromita 14 lwe yatema ne lubbulwamu amannya ge. Bagamba nti bino byakukolebwa okutuusa nga poliisi ebawadde lipoota ku musango gwabwe.

Ruhinda yategeezezza nti Kasingye tagenda kubaggya ku mulamwa wadde okwekweka olw’ebigambo bye ‘okubatiisatiisa.’ Habib Kayondo ye yategeezezza baleme kufuulibwa kiiso kya mbuzi.

Kino yakiggye ku mutuuze we ‘Maria Ntejerize ‘amanyiddwa nga Maama Gertrude eyali nfanfe w’omugenzi eyalumbiddwa ekibinja ky’abantu abaamutiisizza okumukolako obulabe singa tava mu nsonga za Kaweesi, era nga kati yeekukumye olw’obweraliikirivu.

“Kino kigenze wala, gavumenti eringa eyagala okutuzza mumirembe eja bakijambiya,” ffe tujja kufiira ku mazima olw’omuntu waffe. Nsaba Gavumenti eve mu by’okutiisatiisa etulage amazima,” Kayondo bwe yategezeza Bukedde.

Phina Bagenda muto w’omugenzi yategeezezza nti nga famire bakyali wamu, okuggyako ababiri abaabeeyawulako olw’obutamanya kigendererwa kyabwe.

Baasabye Pulezidenti Museveni alabe ng’ekisuubizo kye yakola okukwata abantu abatta omuntu waabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...