TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mumbere ne banne basindikiddwa mu kkooti Enkulu okuwerennemba n'emisango 46

Mumbere ne banne basindikiddwa mu kkooti Enkulu okuwerennemba n'emisango 46

Added 27th June 2017

OMUSINGA wa Rwenzururu, Charles Wesley Mumbere ne Katikkiro we, Johnson Johnson Thembo Kitsumbire n’abaana 6 basindikiddwa mu Kkooti Enkulu bawerennembe n’emisango 46.

BYA JACKIE NAMBOGGA

Oludda oluwaabi lutegeezezza omulamuzi akulira kkooti ento e Jinja, John Francis Kaggwa ng’okunoonyereze bwe kuwedde ne lusaba Mumbere ne banne basindikibwe mu Kkooti Enkulu batandike okuwozesebwa.

Oludda oluwaabi wiiki ewedde lwayongeddeko emisango emipya ebiri okuli ogw’okusirikira amawulire ne batategeeza Gavumenti oba aboobuyinza ku bikolwa bino ebyali bigenda mu maaso.

Omulala gwa kugezaako kuwamba bantu n’ekigendererwa ky’okubatta.  

Emisango egyasooka kuliko ogw’obutujju, okulya mu nsi olukwe, okutta, okugezaako okutta, ogw’obubbi n’okwonoona mmotoka ya Gavumenti.

Wiiki ewedde, kkooti eno yasindika abakuumi ba Mumbere 181 mu Kkooti Enkulu oluvannyuma lw’okubaleeta mu nkukutu nga bapuliida baabwe tebategeezeddwaako.  

Baali baakulabikako mu kkooti eno ku Mmande nga waliwo abawawaabirwa 38 abaali ab’okuyimbulwa oluvannyuma lw’okumala emyezi 6 ku limanda nga tebawozesebwa.

Wabula oludda oluwaabi lwabaleeta mu kkooti ku Lwokuna ne babasindika mu kkooti Enkulu batandike okwewozaako.   Ye Mumbere ne banne omusanvu baayimbulwa ku kakalu ka kkooti era babadde bawoza bava bweru.

Oludda oluwaabi era lwasazeewo Mumbere ne banne musanvu basigale ebweru naye nga baakweyanjulanga mu maaso g’omuwandiisi wa Kkooti Enkulu e Jinja, Jesse Byaruhanga buli lwa Mmande olusooka mu mwezi.  

Puliida waabwe, Eron Kiiza yatabukidde oludda oluwaabi okuleeta abantu baabwe 181 wiiki ewedde nga tabamanyisiddwa.

Yagambye nti kino kityoboola eddembe ly’abawawaabirwa era  tekyabadde mu mateeka.  

Yasabye Kkooti Enkulu okuyita Pulezidenti  Museveni, omuduumizi w’eggye ly’oku ttaka, Maj.  Gen. Peter Elwelu, omuduumizi wa Poliisi, Gen. Kale Kayihura n’omumyuka we, Asuman Mugyenyi.

Yagambye nti bano be baagala okufuula abajulizi baabwe mu musango guno kubanga balina bingi bye babadde boogera ebigukwatako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...