TOP

Eyasaddaaka ow'emyaka 7 bamusibye mayisa

Added 28th June 2017

OMULAMUZI Nyanzi nga tannasalira musajja kibonerezo, yasoose kumubuuza oba alina ky’ayagala kkooti emukolere.

 Kisekwa nga yaakasalirwa ekibonerezo ky’okusibwa amayisa

Kisekwa nga yaakasalirwa ekibonerezo ky’okusibwa amayisa

Sperito Kisekwa eyasaddaaka omwana Sylvia Ssuubi kwe kutegeeza omulamuzi nti: Oweekitiibwa omulamuzi, kituufu omusango naguzza naye mbadde nsaba ompe ekibonerezo ekisaamusaamu.

Nze gw’olaba nabonerera dda kuba ne bye nali nsuubira okufuna nga nzita omwana oyo, tekuli neekimu kye nnafuna. Kisekwa yayongedde okulaajana nti:

Bwe nnaaba nnyimbuddwa, nnina entegeka okutandika okusomesa abantu akabi akali mu kusaddaaka abaana.

Omulamuzi wa kkooti Enkulu, Yasin Nyanzi yawulirizza bulungi Kisekwa, kyokka ku nkomerero n’awa ensala bw’ati:

Engeri gye kiri nti omusango wagukkiriza ku ntandikwa, kkooti  teyinza kukusalira kibonerezo kya kuwanikibwa ku kalabba. Kyokka olw’ekikolwa eky’obukambwe kye watuusa ku mwana atalina kye yali akoze, olina okuweebwa ekibonerezo ekinaakanga abantu abalala abalina ebigendererwa eby’okutta abaana b’eggwanga.

Ogenda kusibwa obulamu bwo bwonna! Abaabadde mu kkooti baatandise okujaganya era ebigambo omulamuzi bye yazzizzaako ng’agamba Kisekwa nti waddembe okujulira mu nnaku 14 bw’aba tamatidde na nsala eyo, bangi tebaabiwulidde nga buli omu ali mu kuyozaayoza munne.

Omusango guno baagusalidde mu Kkooti Enkulu e Nakasongola eggulo era omulamuzi aguwuliridde mu mwezi gumu gwokka. Kkooti yasooka kwejjeereza abantu abalala bana abaali bavunaanibwa ne Kisekwa.

Kino kyaddirira Ssaabawolereza wa Gavumenti, Michael Chibita okuwandiika ebbaluwa ng’alaga nti obujulizi ku bantu abo abana  tebumala era ne bayimbulwa wiiki ewedde, Kisekwa n’asigala bw’omu ku musango gw’okutta Sylvia Ssuubi.

Abaayimbulwa kuliko Scovia Kalungi, Justine Nampiima, Justine Nakibirango n’omusamize Francis Mukasa gwe baasooka okulumiriza nti ye yatumya omusaayi gw’omuwala embeerera n’ebitundu by’ekyama.

Omuwala Sylvia Ssuubi eyalina emyaka 7, yattibwa nga February 25, 2013 ku kyalo Nansaka mu  ggombolola y’e Butuntumula e Luweero.

Yali ne mwannyina Canaan Nankunda 10, nga balunda ente era Kisekwa gye yabasanga n’abawalaawala okubatwala mu kisaka gye yabatemera.

Bombi yabaleka mu kisaka ng’alowooza bafudde, wabula omulenzi Canaan oluvannyuma yadda engulu era ye yawadde obujulizi obwatadde Kisekwa mu kattu n’asalawo akkirize omusango.

Kisekwa baali baamusalira dda  okusibwa emyaka 10 oluvannyuma lw’okusingisibwa omusango gw’okugezaako okutta omulenzi Canaan Nankunda.

Shelin Kasozi avunaanyizibwa ku kulwanyisa ekisaddaakabaana mu Kyampisi Childcare Ministries yagambye nti, bayimiridde ne famire eno okuva nga February 26, 2013 okukakasa nti bafuna obwenkanya.

N’agamba nti ebibonerezo nga bino biyamba okumalawo omuze guno kuba bamanya nti tewali kusaaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....