
Akulira akakiiko k'ebyokulonda mu ggwanga, omulamuzi Simon Byabakama
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Simon Byabakama ategezezza bannamawulire mu Kampala nti ebitongole by’ebyokwerinda naddala poliisi eri bulindaala okukuuma emirembe n’olwekyo ebibinja bya bakannyama n’ebirala ebitali bitongole tebikirizibwa mu kulonda.
Byabakama ategeezezza nti ebigenda okweyambisibwa mu kulonda bigenda kugyibwa ku sitoowa z’akakiiko k’ebyokulonda ezisangibwa e Banda mu Kampala okutandika essaawa 11:00 ez’oku makya ku Lwokuna.
Ayongedde bigenda kugyibwayo abavunaanyizibwa ku by’okulonda era abatunuulizi omuli ne ba ajenti b’abeesimbyewo abalina ebiwandiiko ba ddembe okugenda ne balaba ebigenda mu maaso.
Okulonda kugenda kutandika essaawa 1:00 (emu) ey’okumakya kukomekerezebwe 11:00 ez’olweggulo. Era okubala obululu kutandikirewo. Okuagatta ebivudde mu kulonda kugenda kubeerawo ku saza e Kasangati.
Bannamawulire abalina ebiwandiiko ebiboogerako wamu n’abatunuulizi b’ebyokulonda be bokka abatali balonzi abakkirizibwa mu bifo awalonderwa era atali mulonzi aneesaza mu kifo awalonderwa wakukwatibwa.
Byabakama agambye nti ku saza e Kasangati wagenda kussibwawo ekifo abagenda okukola ku kwemulugunya kwonna we bagenda okutuula. Era nga wano nawo wajja kussibwawo ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’amawulire okutegeeza ensi ekintu kyonna ekinaaba kigenda maaso.
Ku nsonga z’omu ku beesimbyewo Ssentamu Kyagulanyi oba muyite Bobi Wine okugasimbagana ne poliisi e Kasangati, Byabakama agambye nti kyavudde ku kuba nga yabadde ayagala kutegeka lukung’ana lwe kumpi n’eddwaliro era poliisi kwe kumugaana.
Kyokka oluvannyuma yakkiriziddwa okweyongera n’okukuba kampeyini ze e Bulamu n’ewalala.