TOP

Biibino ebiyambye Bobi Wine okuwangula akalulu

Added 30th June 2017

OBUWANGUZI bwa Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ku bantu bangi bwabadde busuubirwa era abamu olwewandiisa mu butongole nga May 31, 2017 ne balangirira nti “tubikwasizza Kyagulanyi”.

Abawagizi ba Bobi Wine nga bawaga. EKIF: LAWRENCE KITATTA

Abawagizi ba Bobi Wine nga bawaga. EKIF: LAWRENCE KITATTA

OBUWANGUZI bwa Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ku bantu bangi bwabadde busuubirwa era abamu olwewandiisa mu butongole nga May 31, 2017 ne balangirira nti “tubikwasizza Kyagulanyi”.

Ku lunaku olwo, amaanyi ge yayolesa gaatiisizaawo abantu abaali bamubuusabuusa nti ddala omusajja wa maanyi. Enkung’ana zonna z’akubye ze zibadde zisingamu abantu, era olw’okuba abantu bangi batya okulonda omuntu atalina maanyi baasalawo okumwegattako.

Ebbanga ly’amaze mu kisaawe ky’okuyimba abantu baabulijjo babadde bamulaba ng’abalumirirwa mu mbeera embi. Mu 2006 nga twetegekera olukung’ana lwa Chogm  yakuba oluyimba lwa Ghetto, alina n’ennyimba endala nga Kikomando, Ebibuuzo ne Tugambire ku Jennifer ezikikkaatiriza nti alumirirwa abali mu buzibu.

 Embeera Kyagulanyi gye yakuliramu ey’okunyigirizibwa yamufuula omulwanirizi w’abantu abali mu mbeera embi. Abadde yeerangirira nga pulezidenti wa Ghetto ng’abantu abasula mu bitundu ebitannaba kukulaakulana naddala abaavu bamulabira ddala ng’omukulembeze waabwe.

 Kyagulanyi yazze mu kalulu ng’abantu bamumanyi nnyo engeri gy’aludde mu kisaawe ky’okuyimba. Kibadde tekimwetaagisa kutuuka ku balonzi bonna okumumanya bamulonde.

Obuwanguzi bwa Kyagulanyi bubaddemu obubaka obulaga nti abavubuka baagala enkyukakyuka z’okufuna omuntu bwe bafaanana. Wadde nga mubad
demu abavubuka abalala mu kalulu nga Muwada Nkunyingi  ne Kantinti kyokka babadde babalaba ng’abateeyisa mu ngeri ya kivubuka. Abavubuka be baasinze okuwagira Kyagulanyi era ne mu nyiriri obwedda be bajjuddemu.

Okwewalana okubadde mu b’avuganya nabo kumuyambye okunyweza abawagizi okuva mu nkambi zonna. Sitenda Sebalu abadde n’ekiwayi ekikulemberwa Getrude Njuba ababadde tebamuwagira. Apollo Kantinti bannakibiina kya FDC naddala abava mu Buganda baagaana okumuyiggira akalulu. Buli muntu abadde anyigirizibwa mu nkambi endala ng’addukira wuwe.

Dr. Kizza Besigye wadde abadde tawagira Kyagulanyi, kyokka obubaka bwe bubadde bulaga nti ne bw’awangula takirinaako buzibu. Yagambye nti mu kampeyini alinamu abantu basatu okuli; Kantinti, Kyagulanyi ne Nkunyingi, era ng’omu ku bano bw’ayitamu abeera ali mu bizinensi. Kino kyagumya n’abawagizi ba Besigye abamukkiririzaamu nti ne bwe banywerera ku Kyagulanyi tekirina buzibu.

Bannabyabufuzi abava mu Buganda okwesamba b’avuganya nabo. Wadde nga Kantinti abadde n’abakulembeze ba FDC, kyokka ekizibu abasinga babadde bava mu bitundu ebyesudde Buganda era ng’abalonzi tebabategeera. Kyokka Kyagulanyi wadde tabadde na babaka ba Palamenti naye ng’ekibinja kye kirimu Emmanuel Serunjogi (meeya w’e Kawempe), Ali Kasirye Ng’anda (meeya w’e Makindye), Serunjogi Musoke (meeya wa Kampala Central), Julius Mutebi (meeya w’e Kira), Ronald Balimwezo (meeya w’e Nakawa), Frank Gashumba n’abalala.

Obutayimba mu luyimba lwa Tubonga Naawe, ekitundu ky’e Kyaddondo East, ekimanyiddwa nti kyalonda Dr. Kizza Besigye mu bungi kyamuyambyeko. Abadde akyogera lunye nti okumanya abalumirirwa kye kyamugaana n’okwetaba mu Tubonga Naawe wadde baali bamuwa ssente nnyingi n’azigaana.

Apollo Kantinti abadde omubaka w’ekitundu abadde asussizza obunafu mu maaso g’abalonzi. Y’abadde minisita avunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu gavumenti y’ekisiikirize. Ono afanaganya obuvunaanyizibwa ne Frank Tumwebaze, kyokka abadde tavaamu kigambo ekintu ne bwe kibadde nga kigwa mu minisitule ye. Emyezi omwenda gy’amaze mu Palamenti tayogedde wadde ekigambo ekimu, mu bukiiko nga wa bbalirirwe era nga ne mu balonzi tababeeramu.

Ekitundu ky’e Kyaddopndo East, kiriraanye ekibuga era abalonzi baamu beeyisizza ddala nga ab’e Kampala. Baagala nnyo omuntu asobola okwogera eddoboozi ne liwulirwa mu Palamenti. Bano bwe baagala omuntu ne bw’obawa ssente tebakyuka, ate nga balina n’abavubuka bangi abasomye nga tebalina mirimu.

Obubaka bwa Kyagulanyi ng’anoonya obululu bangi babwagadde, anti abadde talina gw’alumba wadde okuvumirira omuntu ali mu nkambi endala.

Okwesimbawo nga talina kibiina kya byabufuzi kwajjidde kiwadde abantu abava mu bibiina byonna okumuwagira nga tebaliimu kutya.

Bangi aba NRM babadde bamuwagira nga bagamba nti kasita gwe bawadde taliiko bbala, era nga bwe kiri ne ku balala aba DP ne FDC.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmande ne mukyala we.

Ssentebe Mande akiggadde

SSENTEBE wa Kijabijo B mu munisipaali y’e Kira, Hannington Sseruwu Mande bamujjukizza bye yayitamu ng’atokota mukyala...

Abawagizi ba Tumwesigye nga basaba.

Abawagizi b'eyavuganya mu B...

ABAWAGIZI ba Fred Tumwesigye (afukamidde) eyavuganya ku ky’omubaka wa palamenti owa Buwekula South bamusazeeko....

Underwood (wakati) ne mikwano gye.

Underwood okyanyirira!

JULIET Underwood (wakati) amanyiddwa nga Sharon eyali azannyira mu Ebonies abantu olumulabyeko ne batandika okumubuuza...

‘Okusiiba kwanziza ku masakalamentu’ Rosemary Kilaarire.

Omubiri n'omutima bye bituw...

ROSEMARY Kiraalire mutuuze w’e Kirimannyaga - Zzana. Yayanjula bba Damiano Kiraalire mu 1991 ne batandika amaka...

Kafeero eyakwatiddwa ne mukyala we.

Bakutte bana abatunda eddag...

ABANTU 4 okuli n’omusawo w'ebisolo bakwatiddwa mu kikwekweto ky’okufuuza abatunda eddagala ly’ebisolo ery'ebicupuli...