TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Owa Poliisi ayagala Kirumira avunaanibwe olw'okumutulugunya

Owa Poliisi ayagala Kirumira avunaanibwe olw'okumutulugunya

Added 3rd July 2017

OMUKAZI omupoliisi, DPC w’e Buyende, Muhamad Kirumira gwe yasibira mu kaduukulu n’azirikiramu kata afe, amuwawaabidde mu kakiiko akakwasisa empisa z’abapoliisi (PSU), k’ayagala ka basindike mu kkooti bagasimbagane, yeewozeeko ogw’okumutulugunya.

Pc Rose Wanyana, 45, ng’ennamba ye eri 43773 PC ye yawawaabidde mukama we  Kirumira, ali ku ddaala lya ASP ng’amulanga okumusibira mu kaduukulu okumala olunaku lulamba, puleesa mwe zaamulinnyira n’azirika.

Yamala ennaku nnya mu ddwaaliro ly’e Kamuli nga tamanyi bifa ku nsi kyokka aba ali ku kitanda, nti Kirumira yagende Irundu n’asiba kkuufulu ku  nnyumba ye.

Wanyana agamba nti okuva Kirumira lwe yamusiba, obulamu bwe tebutereeranga munafu nnyo ng’ateebereza nti  osanga bwe yazirika, waliwo  ow’ettima eyamukuba eddagala effu.

Bino byaliwo mu March 2017, oluvannyuma lwa Kirumira okukyusa Wanyana n’amuzza ku CPS, ky’ataakola mangu nga yeewolereza olw’esonga z’amaka, Mukama we kye yayita okumuyisaamu amaaso.

Yamuyita ku CPS, era okukkakkana ng’amuggalidde mu kaduukulu.

Omusango guno ogwa “Harassment” guli ku PSU e Jinja ku fayiro nnamba  PSU/J’JA/GEF/76/2017.

Omusango kuliko ne Godwin Owesigye akulira poliisi y’e Irundu, Wanyana b’alumiriza okwekobaana ne bamutulugunya.

Wanyana ensonga yazisoosa w’akulira ebyenfuga ku kitebe kya Busoga Region,  Mayende  n’abasaba bombi bakkakkanye obusungu ku lw’obulungi bw’omulimu.

Wabula abamu ku bakola ne Kirumira baategeezezza nti Wanyana agezaako okuzimbya ensonga olw’ebigendererwa bye.

Aba PSU baasisinkanye Kirumira ne bamuggyako sitatimenti.

Wanyana ne bba Fred Swaaga  ddereeva wa takisi  balina abaana  musanvu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...