TOP

Eyeeyise mutabani wa Ssebaana bamugobye

Added 10th July 2017

WALIWO omusajja asitudde enkundi ng’alumiriza nti omugenzi John Ssebaana Kizito y’amuzaala.

 Omugenzi Ssebaana Kizito. Ku ddyo ye Nkajja eyeeyita mutabani wa Ssebaana

Omugenzi Ssebaana Kizito. Ku ddyo ye Nkajja eyeeyita mutabani wa Ssebaana

Drake Kizito Nkajja 32, agamba nti Ssebaana yamuzaala mu mukyala Christine Nakiganda (yafa).

Nkajja agamba nti Nakiganda yafiira China gye yali agenze okusoma diguli eyokubiri era lwali lutalo lunene ng’aluddeyo ate nga Ssebaana ayagala mwana we (ye kennyini Nkajja) gwe yali agenze naye.

Nti e China, nnyina yaweererwa Gavumenti ya Uganda eyamusindikayo.

Oluvannyuma Ssebaana yawangula omwana n’amuggya ku nnyina eyasigalira ddala e China ng’amaze okusoma n’okufa n’afiirayo ng’ali ku kyeyo.

Anyumya nti bwe yatuusibwa awaka, mukyala wa Ssebaana eyaliwo ebiseera ebyo teyamusiima era empisa eyamuyisibwamu ye yamuleetera okwagala okwegoba awaka wabula nga kitaawe, Ssebaana y’amulemezaawo.

Agamba nti naye yatuuka ekiseera ng’alemeddwa n’ava awaka.

Nkajja agamba nti si bugagga bw’ayagala kubanga alinawo ebitonotono bye yeekoledde by’atetenkanya mu Kampala naye alumirirwa musaayi gye bamuzaala n’ennaku y’okumwegaana ng’omwana w’awaka.

Agamba nti abamu ku bamumanyi nga baaluganda lwa Ssebaana ye Polof. Mutibwa.

Abalala yanokoddeyo Sarah Nkonge n’abakola ku kitebe kya DP mu Kampala ne City Hall ku kitebe kya KCCA. Ekisinga okumuluma, aba famire kwe kumwesamba ng’abatalina kye bamumanyiko ng’ate muganda waabwe.

Attottola ng’amaka ga Ssebaana bwe gabadde amazibu okubeeramu nga tozaalibwa mukyala we omukulu nti ne bw’obeera ng’oli mukyala wa Ssebaana ow’ebbali, abalala bangi tebakukkiririzaamu.

Nti wadde Ssebaana abadde abeerawo awaka e Kansanga nga mulwadde ne bw’abadde nga tannalwala, abaddenga tamufaako nga mwana we era kye kisinze okumutawaanya nti afudde talina kinene ky’akoze kumunyweza mu kika.

Awa abantu amagezi obuteegomba nnyo bagagga kubanga babeera n’ebizibu ababeegomba bye batayinza kumanya ng’omwo ne Ssebaana ky’ekiti mw’agwa.

Okwogera bino, Nkajja yabadde mu maka ga Ssebaana e Kansanga mu lumbe olwakumiddwa ku Lwokuna.

Bakira ayogera alaga ebitundu bingi ku nnyumba eyo okugeza nti; ekisenge ekisemba mu nsonda eri mwe n’asulanga, wali we nazannyiranga n’ebintu ebirala bye yabadde ayagala okulaga nti awaka amanyiiwo.

Kyokka alina we yayogeredde nti alina emyaka 32 ate n’agamba nti nnyina yafa 1977 ekyabadde ng’ekitegeeza nti, by’ayogera yabadde tabyekakasa.

Bwe yabuuziddwa ku kyo, yategeezezza nti okuva lwe baamwegaana ate nga ne nnyina yali afudde, kyamusukkako n’atandika okwerabira ebintu bingi.

Yamalirizza ng’agamba nti wadde bamwegaana, alifa amanyi nti azaalibwa Ssebaana kubanga ne nnyina yafa tamulaze taata mulala.

Agattako nti nnyina n’okufa, ye yali muto ng’era talina ngeri gye yandimulaze kitaawe mulala era ye gwe yakula naye ng’amugamba nti ye kitaawe (Ssebaana).

Bwe yabuuziddwa oba nga Ssebaana ayinza okuba yakuza mukuze n’okumuyambako mu bintu ebirala ng’omuntu ow’ekisa kyokka ye (Nkajja) n’amwesibirako ddala nti y’amuzaala, yazzeemu nti, bwe wabaawo abuusabuusa bagende bamuggyeko omusaayi.

Kyokka aba famire ya Sebaana baamwegaanyi nti tebamumanyi era abaviire.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...