
Paasita Sserwadda ne Bujingo bwe batalima kambugu
Mu ngeri eraga nti Bujingo yazze yeetegekedde Sserwadda, waasooseewo kuyimba. Bwe baatuuse ku kayimba ka Judith Babirye aka ‘Mukama wanjagala’, obwedda Bujingo ayungamu ebigambo bye nti: “bino eby’ensi ba Sserwadda bye beewaanawaana, sibirina naye Mukama wanjagala...”
Yagambye nti waliwo abaamututte mu kkooti nga bamulanga okubuulira enjiri naye tebajja kumalako.
Yagambye nti Martin Sebuguzi, Joseph Sserwadda ne David Kiganda be bajulizi abakulu.
Yalumbye Sserwadda okweyagaliza obukulu nga kyamutuusa n’okweyita akulira abatume bonna omuli ne Bapetero.
“Sserwadda alinga eyayingira obusamize kuba abasamize baagala nnyo ebitiibwa,” Bujingo bwe yategeezezza.
Yalumirizza Sserwadda nga bwe yatadde obubaka ku facebook ng’agamba nti Bujingo wa kugwa eddalu mu myezi esatu. N’amwambalira; “alimba sijja kugwa ddalu, nsazaamu agagambo g’omukadde omulogo, bimuddire n’abaana be.”
SSERWADDA YEEWADDEKO OBUJULIZI - BUJINGO
Yagambye nti Sserwadda yeewaddeko obujulizi ng’ali ku leediyo ye nti ye yatta Balabyekkubo. “bulijjo ensi temanyi nti ye yatta Balabyekkubo.
Yagambye nti bwe baava mu kkooti ne Balabyekkubo, kati ali ludda wa.
Ky’alina okumanya nti ettaka lya bamulekwa lye baali bawoza n’omugenzi talizzangayo,” Bujingo bwe yayongedde okuyiwa gwe yayise bwino.
Yagambye nti ye si kyangu kumutta nga Balabyekkubo kuba mu kiseera kiri tewaaliwo leediyo kw’ayogerera nkwe ze. Bukedde bwe yatuukiridde Dr. Sserwadda ku bigambo ebyamwogeddwaako Bujingo, yategeezezza nti yabadde tannabiwulira.
Bwe twamuwulirizzaamu akatambi ka Bujingo n’ategeeza nti talina ky’aboogerako okuggyako okwewuunya Bujingo kyokka!
Kyokka Bujingo yategeezezza nti akimanyi bulungi nti abalabe be si bangu era yasalawo n’okutambula ng’akyusakyusa emmotoka.
Yategeezezza nti yekka si gwe bakozeeko ebikolobero, era akakasa nti olunaku Sserwadda lw’alifa Abasiraamu baliggyayo eng'oma ne bazina.
Bano talina ky’ataabavuma nga yatuuka n’okuwandiika ekitabo ekibavvoola.
Kyokka mu kiseera kino amulaba ne Mufti Mubajje mu nkiiko.
“Ekiwalaata kya Sserwadda ne bwe kirituuka ku kabina ojja kufa,” Bujingo bwe yaweze.
Bujingo yagambye nti Sserwadda yagezaako okuyingira ebyobufuzi ne bigaana ky’ava agezaako okwefuula Pulezidenti w’abalokole.
“Yeesimbawoko dda ne Ken Lukyamuzi e Lubaga South, n’amukuba akalulu mu kiwalaata. Okuva olwo omutwe gwe tegutereeranga.” Bujingo bwe yakkaatirizza.
Ku by’okufa kw’omusumba Mugerwa, Bujingo yagambye nti yalina pulogulaamu ku leediyo ya Sserwadda eya Impact.
Kyokka Sserwadda bwe yamala okukola omupango gw’akabanje n’agenda mu kkanisa nti amuwaako obujulizi.
Yaweze nti ye tayinza kukkiriza kulinnya wuwe kuba amumanyi.
“Sserwadda atadde bannamwandu mu nsi abawera, naye ku luno kigenda mu nju ye.” Bujingo bwe yaweze.
Yayongeddeko nti abakadde b’ekkanisa abazze balabula Sserwadda obutayingira byabufuzi balwalamu katono ne bafa.
Bujingo yategeezezza nti Katonda eyamuwonya Martin Sebuguzi mutabani wa Sserwadda gwe yali amusindikidde era ajja kumuwanguz.