TOP

Bujingo asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi

Added 11th July 2017

OMUSUMBA Aloysius Bujingo okugenda mu kkooti e Nabweru yasoose kusumba ndiga ze mu kusaba kw’amalya g’ekyemisana n’abakunga bamuwerekereko babeerewo ng’abajulizi.

 Matovu Junior (wakati) avunaana Bujingo okwokya Bayibuli ng’ali ne looya we Wameri (ku ddyo) eggulo ku kkooti.

Matovu Junior (wakati) avunaana Bujingo okwokya Bayibuli ng’ali ne looya we Wameri (ku ddyo) eggulo ku kkooti.

BYA STEVEN KIRAGGA

Nga tebannaba kusimbula, olwamalirizza okusaba n’ategeeza nti mu kkanisa muteekwa okuba nga mwabaddemu bambega abaabadde bagenze okwongera okukuhhaanya obujulizi era n’alagira buli Bayibuli etatuukana na ‘mutindo’ gw’ayagala bagikung'aanye.

Baasimbudde ku Canaan Land awali ekkanisa ye eya House of Prayer Ministries ku ssaawa 8:30 ez’emisana era zaagenze okukoona 9:00 omusango kwe gwabadde gulina okutandikira ng’atuuse ng’awerekerwako ebikumi n’ebikumi by’abawagizi be.

Abaserikale okuva ku poliisi y’e Nabweru ne Kawempe baasanze akaseera akazibu okutangira abagoberezi ba Bujingo okuyingira kkooti.

Nga waakayita eddakiika 10, omulamuzi wa kkooti y’e Nabweru Esther Nansambu yayise Bujingo n’abamuvunaana mu ofiisi ye omusango gy’abeera aguwulirira olwo abagoberezi abaakedde obukeezi okwekwata ebifo mu kkooti ne basoberwa eky’okukola ne basalawo okugoberera mukama waabwe kyokka ne balemesebwa okuyingira olwo ne basigala ku mulyango ng’ebigenda mu maaso balengera birengere.

Mu ofiisi y’omulamuzi, ne bannamawulire tebakkiriziddwa kuyingira era bakira kkamera baziwanika mu bbanga okusika ebyabadde bigenda mu maaso.

Ebikumi n’ebikumi by’abagoberezi abaagaaniddwa okuyingira baasazeewo okulindira ebweru nga bwe bakoloobya ennyimba nti; ‘Twagala ddiini ssi ssente’ era bakira muno bagattamu amannya g’abasumba Kiganda ne Dr. Joseph Sserwadda.

Oludda lwa Bujingo lwategeezezza kkooti nti abawaabi tekuli yalaba muntu waabwe ng’ayokya Baibuli okuggyako okwesigama ku mawulire agaali ku mikutu gy’amasimu n’emirala.

Ate oludda oluwaabi lwakulembeddwa Anthony Wameri nga lwasabye kkooti eyimirize Bujingo okwokya Baibuli ezo ezirimu ebigambo by’atakkiriziganya nabyo.

Abantu babiri Aloysius Kizza Matovu Junior ne Evang. Francis Ssemugooma baaloopa Bujingo omusango gw’okwokya Bayibuli z’alumiriza nti zirimu ebigambo ebitali bya Bwakatonda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...

Basse owa S3 ne balagirira ...

ABATEMU babuzizzaawo omuwala owa S3 okuva mu maka ga bakadde be ne bamusobyako oluvannyuma ne bamutta, omulambo...

Luzinda

Desire Luzinda tatudde!

OMUYIMBI Desire Luzinda abamu gwe baakazaako erya ‘Kitone’ naye nno tatuula. Bwe yabadde agogera ku bulamu bwe...

Kenzo

KENZO: Ayambalidde abamulan...

BWE yatuuse ku bamuvuma olw’okusisinkana Pulezidenti Museveni n’okumulangira okulya ssente, Kenzo yakangudde ku...