TOP

Gav't ebaze etteeka eppya ku ttaka

Added 12th July 2017

GAVUMENTI baze etteeka erigenda okugyanguyiza okuggya ettaka ku bantu liyambe mu kutandikawo emirimu gy’enkulaakulana egitali gimu.

 Omumyuka wa Ssaabawolereza wa gavumenti Mwesigwa Rukutana

Omumyuka wa Ssaabawolereza wa gavumenti Mwesigwa Rukutana

Omumyuka wa Ssaabawolereza wa gavumenti Mwesigwa Rukutana yategeezezza nti ebbago lino limaze okukolebwako olukiiko lwa baminisita.

Era ligenderera kukyusa mu kawaayiro ka Konsityusoni nnamba 26 nga ligendereddwaamu okwanguyiza gavumenti okufuna ettaka okuva ku bantu erinaayamba mu kutandikawo emirimu gy’okwekulaakulanya.

Rukutana yagambye Palamenti eyakubiriziddwa sipiika Rebecca Kadaga nti ebbago limaze okussibwa mu katabo ka gavumenti akatongole aga ‘Uganda Gazette’.

Nga kitegeeza nti essaawa yonna lisobola okuleetebwa mu Palamenti ababaka n’abantu ba bulijjo ne balikubaganyaako ebirowoozo era bwe liba liyise Konsityusoni n’ekyusibwamu.

Wabaddewo okwemulugunya nti emirimu gy’enkulaakulana egimu gitambula kasoobo olwa gavumenti okukaluubirizibwa mu kufuna ettaka ly’okukola emirimu okugeza okukola enguudo, okutandikawo amakolero n’ebintu ebirala ebikuza eggwanga.

Olumu bannannyini ttaka bagenda mu kkooti nga bawakanya eby’okutwala ettaka lyabwe nga tebamatidde na ssente zibaliyiriddwa ekireetera ebintu obutatambula bulungi.

Kyokka ebiri mu bbago eppya tebinnamanyika mu bujjuvu.

Akawayiro akali mu Konsityusoni kati kagamba nti buli muntu alina eddembe okuba n’eky’obuggagga bwe eky’obwebange  era tewali alina buyinza kukimuggyako okuggyako ng’alina obukwakulizo bw’atuukiriza.    

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...