TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Mukomye okucamuka olw'akawayiro akakugira Pulezidenti okuddamu okwesimbawo - Kadaga

Mukomye okucamuka olw'akawayiro akakugira Pulezidenti okuddamu okwesimbawo - Kadaga

Added 12th July 2017

SIPIIKA Rebecca Kadaga alabudde ababaka okukomya okucamuukirira n’okukubaganya ebirowoozo ku ky’okuggya ekkomo ku myaka gy’obukulu Pulezidenti gy’alina okuba nagyo okwesimbawo ng’agamba nti ebbago ly’okugikyusa terinnatuuka mu Palamenti.

 Sipiika Kadaga

Sipiika Kadaga

W'ayogeredde bino ng’abantu abatali bamu batandise okukubaganya ebirowoozo ku ky’okuggyawo ekkomo ly’emyaka 75 egy’obukulu eyesimba ku bwa Pulezidenti gy’alina obutasussa nga kiteberezebwa nti  Konsityusoni eyinza okukyusa akawayiro kano ne kaggyibwamu.

Konsitityusoni egamba nti omuntu okwesimba ku Bwapulezidenti alina okuba wakati w’emyaka 35 ne 75. Kati kano akawaayiro bwe kasigala mu Konsityusoni kawandula Pulezidenti Museveni obutaddamu kwesimbawo mu 2021.

Kyokk Kadaga yagambye:

‘’ Waliwo abatandise okutiisatiisa ababaka ku nsonga y’akawaayiro kano. Lwaki mucamuka ku bbago ly’etteeka ly’okukyusa mu Konsityusoni eritannatuuka na mu Palamenti ?’’.

Pulezidenti wa DP Nobert Mao yagambye nti ekibiina kigenda kukozesa amakubo gonna agasoboka okulwanyisa okuggya akawaayiro kano mu Konsityusoni ne bwe kinaaba kyetaagisa kugenda mu kkooti.

Kyokka Sipiika Kadaga eyabadde akubiriza Palamenti eggulo yategeezezza nti ebbago ly’okukyusa Konsityusoni terinnatuuka mu Palamenti n’olwekyo ababaka bave mu kwonoona ebiseera n’okukubaganya ebirowoozo ku bbago eritaliiwo.

Minisita w’eggwanga ow’ebyamatteeka Mwesigwa Rukutana yagambye nti n’ebbago ly’okukyusa mu Konsityusoni terinnakolebwa. N’agamba nti ayagala okuggyawo okutya n’okucamuka mu bantu ku bbago lino nti terinnakolebwa.

Gavumenti yategeeza nti egenda kussaawo akakiiko akakung’aanya ebirowoozo by’okukyusa mu Konsityusoni ya 1995 abantu bawe bye baagala okukyusibwamu.

Muno mwe musuubirwa okuggyira akawayiro ku kkomo ku myaka gya Pulezidenti.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...