TOP

Abaalya ssente za Gavt' e Kayunga babakutte

Added 17th July 2017

ABEEWOLA ssente za gavumenti ez’abavubuka e Kayunga kyokka ne bagaana okuzisasula bakwatiddwa ne baggalirwa.

 Abamu ku baakwatiddwa nga bali ku kabangali ya Poliisi. EKIF: SAUL WOKULIRA

Abamu ku baakwatiddwa nga bali ku kabangali ya Poliisi. EKIF: SAUL WOKULIRA

ABEEWOLA ssente za gavumenti ez’abavubuka e Kayunga kyokka ne bagaana okuzisasula bakwatiddwa ne baggalirwa.

Abantu bataano be baakwatiddwa okuva mu bitundu okuli; Bbaale, Galiraaya ne Kayonza era nga baakolawo ebibiina eby’enjawulo mwe beewolera ssente kyokka ne bagaana okuzisasula.

Abaakwatiddwa kuliko; Annet Mpiima eyeewola 7,440,000/-, Umar Ssegujja abanjibwa 8,480,000/-, Fred Kasozi 9,000,000/- n’abalala.

Bano baakwatiddwa mu kikwekweto ekyakulembeddwa omumyuka wa RDC e Kayunga Were, DISO wa Kayunga, Stephen Kasadha, n’akulira enteekateeka y’okuwola abavubuka ssente, Edgar Basaliza okufeffetta abo bonna abaawolebwa ssente ne bagaana okuzisasula.

Were yagambye nti ebikwekweto bikyagenda mu maaso okulaba nga abo bonna abeewola ssente z’abavubuka bazikomyawo ate ziwolebwe abantu abalala abeetegese okuzifuna.

Yagambye nti abamu ku be bayigga baabayise mu myaganya gya ngalo ne badduka wabula baakubanoonya yonna gye beekukumye bakwatibwa basasule ssente ze beewola.

Akulira enteekateeka y’okuwola abavubuka ssente zino, Edgar Basaliza yagambye nti gavumenti yawa Kayunga obukadde 600 emyaka esatu egiyise ne baziwola ebibiina by’abavubuka wabula obukadde 450 ze zikyali mu mabanja, abazeewola beebuzabuza tebannasasula.

Basaaliza agamba nti olw’okuba abeewola ssente bakyaziremedde kiremesezza n’ebibiina ebyetegese okuweebwa ssente kubanga teziriiwo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'ewa Kisekka bazzeemu oku...

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose ewa Kisekka nga poliisi egumbulula abasuubuzi ababadde bakedde okwegugunga nga...

Bamukutte mu bubbi ne yeeka...

"Nnaliko omubbi ne mbuvaamu nga mu kiseera kino sirina mulimu wabula maama ampa buli kyetaago siraba lwaki nziba,...

Poliisi ekutte Sipapa

Poliisi ekutte Sipapa

Patrick Onyango omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano bwe yatuukiriddwa ku ssimu yakakasizza okukwatibwa...

Abaserikale nga bakutte Kirumira.  Mu katono ku kkono ye Namulindwa n'omwana we gw'agamba nti Kirumira yamukubisizza waya z'amasannyalaze.

Abatuuze gwe balumiriza oku...

Kirumira yategeezezza nti abantu abakubira nsonga ng'omwana yamukubidde kutwala firimu ey'obuseegu ewuwe n'ekigendererwa...