TOP

Fayiro ya Massa ewedde - Poliisi

Added 18th July 2017

POLIISI emalirizza fayiro kw’evunaanira eyaliko kapiteeni wa Uganda Cranes, Geofrey Massa ne muganzi we Josephine Maliza.

 Massa

Massa

Omwogezi wa poliisi ya Kampala n’emiriraano, Emilian Kayima yagambye nti, baamalirizza buli ekyetaagisa ku fayiro ya Massa era balindiridde abawaabi ba Gavumenti bave mu keediimo ke balimu, fayiro esindikibwe mu kkooti.

Yagasseeko nti, fayiro eriko emisango mingi wabula balinako ebiri gye basinga okwetaaga era gye basinze okuteekako amaanyi okuli ogw’okutomera omuserikale mu bugenderevu n’okwonoona pikipiki ya poliisi nnamba UP 5134.

Poliisi yaggula ku Massa emisango gino oluvannyuma lw’okumusanga ne Josephine gwe yali alonze ekkubo nga bali mu luboozi olunyuunyutuvu mu mmotoka ekiro e Namboole.

Kyokka poliisi bwe yagezaako okumubuuza kye yali akola mu budde obwo, n’asimbula mmotoka n’atomera pikipiki n’omuserikale ekyabawaliriza okugikuba amasasi agaakwata Josephine ku kabina.

Abazannyi mu ttiimu ya Uganda Cranes Massa gy’abadde aduumira okumala emyaka ebiri mwe yasobodde okugituusa e Gabon mu mpaka za Afrika Cup of Nations 2017, bavumiridde ekya poliisi okukuba munnaabwe amasasi ne bagamba nti ssinga yafudde olwo bandigambye batya? Kapiteeni wa Uganda Cranes eyaddidde Massa mu Bigere, Geofrey Sserunkuuma yagambye nti, Massa amumanyi nti muntumulamu, tayomba, tanywa mwenge n’avuma bantu ate si mubbi n’agamba nti tewali nsonga yonna yabadde ebaviirako kukuba mmotoka ye masasi.

Yagasseeko nti, ye nga Sserunkuuma, ekikolwa ekyakoleddwa n’engeri poliisi gye yakikozeemu akivumirira.

Yagambye nti, poliisi kye yakoze ne bwe yandikikoze ku muntu gw’atamanyi, era yandikiyise kikyamu.

Nicholas Wadaada asamba nnamba 2 ya Uganda Cranes yagambye nti, Massa we yafunidde obuzibu buno baabadde Sudan gye baabadde bagenze okusamba omupiira.

Yagasseeko nti baakomyewo ku Ssande ate baatuukidde mu kutendekebwa n’agamba nti, basuubira okugenda okumulabako nga bafunye akadde.

Yagambye nti Massa musirise era muzibu waakuggyamu kigambo.

Yategeezezza nti, okusinziira ku mateeka ga poliisi, omuntu bw’ataba na kissi, omuserikale takkirizibwa kufulumya ssasi kyokka ku Massa, baafulumizza amasasi agaayonoonye n’emmotoka ye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akulira UNEB Dan Odongo.

UNEB be yasunsudde okutegek...

Bya Benjamin Ssebaggala  AKAKIIKO akagaba n'okusunsula abakozi mu minisitule y'ebyenjigiriza (Education Service...

Omusawo ng'agezesa bwe balongoosa.

''Mukebere abalwadde endwad...

AKULIRA eddwaaliro ly’e Mulago, Dr. Byarugaba asabye abasawo abalongoosa endwadde nga kkansa w’omu byenda essira...

Abamu ku baabadde mu lukiiko.

Ababadde basolooza busuulu ...

ABATUUZE beekubidde enduulu mu boobuyiinza babayambe obutatundirwa mu bibanja byabwe okubafuula emmomboze. Kiddiridde...

Omusajja ng'afuuyira mu ntebe z'omutuuze.

Balimwezo ne KCCA baggudde ...

Ekitongole kya KCCA nga bali wamu ne Balimwezo Community Foundation batongozza okufuuyira ebiku n’ebiyenje nnyumba...

Mwanje eyabula.

Omusajja eyabula yeeraliiki...

Ssande Mwanje 37, ow'e Gganda yeeraliikirizza mukyala we Aisha Nakanjako 28. Ono yamulekera abaana bana: omukulu...