TOP

Ssemaka atemyeko omukozi we omukono lwa mukazi

Added 19th July 2017

SSEMAKA ateeberezza amuyamba ku mirimu gy’awaka okumwagalira omukazi n’amutemako omukono.

 Obosi eyatemeddwa ng’ali e Mulago. Mu katono ye Lukambwe eyamutemye.

Obosi eyatemeddwa ng’ali e Mulago. Mu katono ye Lukambwe eyamutemye.

Yasoose kumutema mu kifuba ng’adduka, yazzeeko okumutema okugulu n’agwa wansi olwo n’amukutulako ekitundu ky’omukono!

Abadduukirize we baamutaasirizza ng’ayagala kumuggyako bulago.

Ssaalongo Samuel Lukabwe ow’e Kakukuulu e Kasawo Mukono ye yatemyeko Ssaalongo David Obosi 53, omukono kati ali e Mulago ng’anyiga biwundu n’eggumba ly’okugulu eryakutuse.

Lukabwe, omusuubuzi alina edduuka e Mukono, bwe yazzeeyo eka ku Ssande ekiro yasookedde ku nnyumba ya nnyina Halima Nabankema n’amubuzaako bwe yamubuuzizza ekimukomezzaawo amatumbi budde nga tanyega n’atambula ng’adda ku nnyumba ye.

Okusinziira ku Nabankema, Lukabwe olwatuuse ku luggi n’akonkona nga bw’alagira omukazi okuggulawo.

Ennyumba ya Lukabwe egabana oluggya n’eya nnyina. Yalagidde mukyala we Fatuma Nakamaanya amuggulire. Bwe yaluddewo okuggulawo n’acwaana.

Yakubye oluggi n’ayasa endabirwamu, olwabandudde Obosi n’afubutuka olwo Lukabwe n’amutema ejjambiya mu kifuba Yayongedde okudduka n’amutema okugulu n’agwa.

Nabankema bwe yawulidde ng’embeera etabuse n’aggulawo era yeeyakubye enduulu eyabagulizza ku badduukirize abaataasizza Obosi.

Nabankema yagambye nti Obosi abadde ava Kikandwa gye bazaala Nakamanya (mukazi we) nga bamanyi nti amulinako oluganda.

Balina ekibiina ekitimba ku mikolo era ng’akola nabo. Olumu abadde ajja ewa Lukabwe n’akima amazzi n’okubayambako emirimu emirala.

Obosi baasoose kumutwala mu ddwaaliro e Kayunga gye baamuggye okumutwala e Naggalama oluvannyuma ne bamutwala e Mulago ng’aggwaamu omusaaayi.

Ng’ali ku kitanda e Mulago yategeezezza nti ab’omu maka ga Lukabwe beebaamusabye ajje abasulire mu nnyumba era abadde atera okukolawo ogw’obukuumi, bw’atyo n’aleka mukyala we Nanvuma ewaabwe n’ajja asulewo kyokka Lukabwe yamwefuulidde.

Ssentebe w’ekyalo Joseph Musisi yategeezezza Bukedde nti babadde bamukwano nnyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...