
Bobi Wine n’ensawo ye ku mugongo bwe yabadde tannasimbula kugenda mu palamenti eggulo. Ate ku ddyo ng'ali mu Palamenti
OMUBAKA Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) akiise ku Palamenti omulundi gwe ogusoose okuva lwe yalayira ku kifo ky’omubaka wa Kyaddondo East.
Mu kugenda mu palamenti eggulo, yasookedde mu Ghetto n’akwata ensawo ye n’agissa ku mugongo n’atambula ng’avimba (okuzimba) okuyingira emmotoka ye eyamututte ku palamenti.
Bobi Wine yabadde mu ssuuti emmyuufu ng’asibiddeko ettaayi emmyuufu erimu obumuli. Era bwe yatuuse ku palamenti, n’afuluma mmotoka n’agooma.
Kyagulanyi eyalayira mu Palamenti nga July 11, 2017 abadde taddangamu kulabikako, kuba bwe yamala okulayira n’alinnya ennyonyi eyamutwala e Dubai okuwummulako ne mukyala we Barbie Itungo nga beekulisa akalulu.
Ku palamenti yatuuseeko ku ssaawa 8:00 oluvannyuma lwa wiiki nnamba nga talabikako.
Yabadde yaakatuuka ku madaala ga Palamenti, ne basisinkana ne Dayirekita wa Kampala Jennifer Musisi Semakula eyabadde afuluma.
Baayimiridde okumala akaseera ne banyumyamu ku ngeri ekivvulu kya Kampala Carnival gye kinaategekebwamu.
Kyagulanyi oluvannyuma yategeezezza omusasi nti wadde azze mu Palamenti, kyokka tagenda kwogerererawo.
Agenda kusooka kwetegereza biteesebwa era akuguke ne mu nteesa kuba ekifo ky’azzeemu kyanjawulo.
Obwedda buli mubaka amulabako ng’amwaniriza n’okumuwa engalo awamu n’okumugwa mu kifuba mu ngeri y’okumuyozaayoza.
Musisi n’abakozi b’ekitongole kya KCCA baalabiseeko mu kakiiko ka palamenti aka COSASE akabuuliriza ku bitongole bya Gavumenti bwe baabadde bazze okunnyonnyola ku nkozesa ya ssente embi nga bwe kyalabikira mu lipooti y’omubalirizi w’ebitabo bya gavumenti eya 2013/2014.
Annet Anita Among (mukazi/Bukedea) omumyuka wa ssentebe wa COSASE ye yakubirizza akakiiko.
Ensonga ababaka gye baasinze okwesibako y’ey’okusaasaanya ssente obukadde 1,900 ku kiraabu y’omupiira eya KCCA kyokka nga tewali mbalirira gye balaga.
Julius Kabugo, abadde ssentebe wa kiraabu ya KCCA yakkirizza nti ddala kituufu obukulembeze obwaliwo mu kiseera ekyo bwali tebulina biwandiiko bitegeke era ne yeetonda.
Kyokka oluvannyuma ensobi eno baagitereeza.