TOP
  • Home
  • Agawano
  • Ssemwanga taba kufa maama teyandifudde - muto wa Zari

Ssemwanga taba kufa maama teyandifudde - muto wa Zari

Added 21st July 2017

OKUFA kwa Ivan Ssemwanga (Ali Ssenyomo) maama kwamukuba wala.

 Zuleh Hassani, muto wa Zari ng'annyonnyola. Mu katono ye nnyaabwe oluvannyuma lwa nnyaabwe Halima Hassani eyafudde. EBIFAANANYI BYA MARTIN NDIJJO

Zuleh Hassani, muto wa Zari ng'annyonnyola. Mu katono ye nnyaabwe oluvannyuma lwa nnyaabwe Halima Hassani eyafudde. EBIFAANANYI BYA MARTIN NDIJJO

Era okuva olwo teyaddamu kuba bulungi okutuusa naye lw’afudde;

Bwatyo Zuleha Hassani muto wa Zari Hussein eyasangiddwa mu maka gaabwe e Munyonyo ku Lwokuna ku makya bwe yayogedde oluvannyuma lwa nnyaabwe Halima Hassani (58) okufa.

Maama wa Zari w’afiiridde nga Zari yaakaddayo e South Afrika (yazzeeyo ku Mmande) okulaba ku baana be yalekayo, bwe baamuyita wiiki bbiri emabega nga nnyina ali bubi, assiza ku byuma.

Zuleha, omu ku babadde bajjanjaba nnyina mu ddwaaliro e Nakasero, yagambye nti wadde Halima abadde atawaanyizibwa endwadde omuli, Sukaali, Puleesa n’amawugwe, yakosebwa nnyo okufa kwa Ssemwanga era okuva olwo abadde mugonvu. Ssemwanga yafa mu May w’omwaka guno.

Amaka Zari ge yazimbira nnyina.

 

“Wadde Zari yali yayawukana ne taata w’abaana be, gwo omukwano wakati wa Ssemwanga ne famire yaffe n’okusingira ddala maama gwasigalawo era abadde amukolera buli kimu kye yeetaaga. Ivan bwe yafa, maama puleesa yamukuba.

” Zari baamubikidde ng’ali South Afrika n’alinnya ennyonyi ajje akole ku by’okuziika.

Omugenzi aziikibwa leero (Lwakutaano) e Busunju ku Hoima Road mu maka ga kitaawe Hajji Matovu.

OMULAMBO BAGUKWATIDDE MU DDWAALIRO

We zaaweredde essaawa 6:00 ez’omu ttuntu ku Lwokuna, ng’omulambo gwa maama wa Zari ab’eddwaaliro bakyagulemedde olw’ebbanja ery’obukadde 12 kyokka oluvannyuma lw'aba famire okusonda ssente okulaba nga ebbanja lisasulwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...