TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omubuulizi bamututte mu kkooti lwa kukuba muntu n'amulumya

Omubuulizi bamututte mu kkooti lwa kukuba muntu n'amulumya

Added 24th July 2017

OMUBUULIZI w'ekkanisa ya St. James Mengo Kisenyi Godfrey Makhonje asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Juliet Harty Hatanga, owa kkooti ento ku LDC e Makerere n'asomerwa omusango gw’okukuba n’okulumya omuntu.

 Omubulizi Makhonje ng'afuluma akaduukulu ku kkooti ya LDC e Makerere. Mu katono nga bw'afaanana. EKIF: PONSIANO NSIMBI

Omubulizi Makhonje ng'afuluma akaduukulu ku kkooti ya LDC e Makerere. Mu katono nga bw'afaanana. EKIF: PONSIANO NSIMBI

OMUBUULIZI w'ekkanisa ya St. James Mengo Kisenyi Godfrey  Makhonje asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Juliet Harty Hatanga, owa kkooti  ento ku LDC e Makerere  n'asomerwa omusango gw’okukuba n’okulumya omuntu.

Kigambibwa nti nga 5, June, 2017  Makhonje yakuba Meddy Wamundu (35), n'amutuusako obuvune obwamaanyi ku mutwe.

Wabula omubulizi bw'asimbidwa mu kaguli omusango agwegaanye. Ng'ayita mu bannamateeka bw’obulabirizi bw'e Namirembe abakulembedwamu Fredrick.J. Mpanga asabye okweyimirirwa ku kakalu ka kkooti omulamuzi ky'akkirizza.

Abamweyimiride kubaddeko Rev. George William Kyeyune, omusumba w'e Katwe II mu Busaabadinkoni bw'e Mengo, Rev. Stephen Mpozza akulira akakiiko k'ebyettaka mu bulabirizi bw'e Namirembe ne Rev. Moses Kayimba ow'e Namasuba -Kikajjo.

Omulamuzi abasabye obukadde 3 mu mpeke n’obukadde 5 buli omu ezitali za mu buliw.

Wabula ono bwayimbuddwa atukidde awaka atukidde mu mizira nayimba ezitendereza omutonzi okuva mu bakulisitayo.

Makhonje yegaanye ebimwogerwako n'agamba nti abaamusibisizza bagaalwa kutwala ttaka lya kkanisa.

Yeebazizza bakama be ab'e Namirembe, famire ye n’Abakrisitaayo olw’okumubeererawo mu kaseera mbeera enzibu.

Omuwolereza wa Gavumenti Florence Birungi ategeezezza kkooti nti omusango gukyanoonyerezebwako era bw'atyo n'asaba omulamuzi agwongezeeyo.

Omusango guddamu  nga 17, August 2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...