
Takisi eyatuze abawagizi ba Bulemeezi FC nga bw'efaanana. EBIFAANANYI BYONNA BYA PADDY BUKENYA
ABAWAGIZI ba tiimu y’essaza lya Bulemeezi bagudde ku kabenje bataano ne bafiirawo ate abalala mwenda ne baddusibwa mu ddwaaliro n’ebisago ebyamaanyi.
Akabenje kano kaagudde mu kibira ky’e Senene mu Gombe tawuni kanso mu Butambala ku luguudo oluva e Mpigi okudda e Gomba, mmotoka ya takisi nnamba UAZ 212D eyabadde ekubyeko abawagizi ba ttiimu y’essaza lya Bulemeezi bwe yalemeredde omugoba waayo n’egwa mu luwonko yonna n’esaanawo era abaalumiziddwa poliisi n’abatuuze baabatemyemu butemi nga bawagamidde mu mbaati za takisi.
Akabenje kaaguddewo ku ssaawa 8 ez’olweggulo.
Abaafudde kuliko; Zamu Nalubega omutuuze w’e Wobulenzi Luweero, abalala kutegeerekeseeko Kenneth , Sarah n’omuyizi nga bonna batuuze b’e Wobulenzi mu Luweero gattako ne ddereeva wa takisi eno, David Sserubbo ng’ono yafudde yaakatuusibwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago gye yaddusiddwa ng’akutuseeko amagulu n’ekitundu ky’ekifuba.
Sserubbo abadde muganda w'eyaliko meeya w'e Wobulenzi, Tito Ddamulira
Abaalumiziddwa kuliko Cossy Nambooze , Christine Nakidde ow’e Busula - Luweero, Gayita Ssenjovu ow’e Kawanda - Wakiso, Bashir Mudde ow’e Wobulenzi, Eric Ntuluma omutuuze w’e Wobulenzi, Agnes Nakibuule ow’e Busula Luweero, Hasfah Nattabi ow’e Bulemeezi nga bano bonna baddusiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago nga bataawa.
Okusinziira ku baabaddewo ng’akabenje kano kagwawo baategezezza nti mmotoka eno yabadde ku misinde gya yiriyiri kyokka ng’oluguudo luseera oluvannyuma lw’enkuba okutonnya ng’ate oluguudo luno lukolebwa ekyaviiridde mmotoka okuseerera okukakkana ng’egudde mu mwala ogutwala amazzi.
Poliisi y’e Gombe ne ginnaayo ey’e Kibibi yatuuse mu kifo kino kyokka yafunye akaseera akazibu okuggyamu abaalumiziddwa.
Bakira abaalumiziddwa balaajana okutuusa abatuuze bwe baayambyeko ku Poliisi ne batema emmotoka ne babaggyamu ne basooka babaddusa mu ddwaliro ly’e Gombe gye baggyiddwa ne batwalibwa e Mulago nga bataawa.
Abantu bana baafudde baakatuusibwa mu ddwaliro e Gombe ekyaggye abantu mu mbeera ne balumba poliisi nga bagisaba ambyulensi babatwale e Mulago kyokka bwe yaleeteddwa ne banoonya ddereeva waayo nga taliiwo olwo ne bongera okutabuka era katono bagajambule abapoliisi abaabaddewo n’abasawo b’eddwaaliro nga babalanga bulagajjavu.
Wabula poliisi yabakkakkanyizza abalwadde ne batikkibwa ku kabangali yaayo ne baddusibwa e Mulago nga bataawa.
Abawagizi baabadde bagenda Kabulassoke kuwagira mupiira nga badding'ana ne Gomba mu 'quarter' z'amasaza.