TOP
  • Home
  • Amawulire
  • UPDF etandise okubuuliriza ku bulumbaganyi bwa al- Shabab omwafiiridde abajaasi 12

UPDF etandise okubuuliriza ku bulumbaganyi bwa al- Shabab omwafiiridde abajaasi 12

Added 1st August 2017

AMAGYE ga UPDF gataddewo akakiiko okubuuliriza ku bulumbaganyi bw’abatujju ba al Shabaab omwafiiridde abajaasi ba Uganda 12, abaasindikibwa mu Somalia mu ggye erikuuma emirembe erya AMISOM.

Abatujju ba al Shabaab baakoze olulumba ssinziggu ku bajaasi b’ekibinja eky’omusanvu eky’eggye lya AMISOM be baateeze e Goryowein wakati w’e Bulumaler ne Beladamini mu kitundu ky’e Lower Shabelle ekyesudde kiromita140 mu Bugwanjuba bw’ekibuga Mogadishu.

Omwogezi w’amagye ga UPDF, Brig. Richard Karemire yategeezezza nti abajaasi ba AMISOM baabadde balawuna e Goryoweine nga bali mu kibinja ky’abantu 100 ne bagwa mu batujju ba al Shabaab.

Obulumbaganyi buno bwabaddewo ku Ssande, abajaasi ba Uganda bwe baabadde balawuna ekitundu kya Brig. Karemire kye yagambye nti kirimu empulunguse z’abatujju ba al Shabaab abatera okuteega emmotoka ne batta n’okunyagulula abantu.

Yagambye nti Brig. Kayanja Muhanga gy’ali e Mogadishu okwekenneenya embeera.

Brig. Karemire yategeezezza nti abajaasi ba Uganda 12 baafiriddewo ate abalala musanvu ne bafuna ebisago era baatwaliddwa mu ddwaaliro e Mogadishu gye bali ku kujjanjabibwa ng’enteekateeka bwe zikolebwa okubazza mu Uganda okwongera okujjanjabibwa.

Omwogezi w’amagye ga AMISOM, Wilson Rono yategeezezza nti abajaasi abattiddwa baabadde mu kibinja kinene nga batambulira ku luseregende lw’emmotoka 24, nga baavudde mu kabuga k’e Shalanbod nga baagenze okubalumba nga banaatera okutuuka okumpi n’akabuga k’e Bulo Marer.

Abatujju ba al Shabaab baafulumizzaawo ekiwandiiko nga beewaana nga bwe basse abajaasi ba AMISOM 39.

Emirambo gyabwe baagikubye ebifaananyi ng’egimu bagiwalula mu nguudo.

Abamu ku batuuze b’e Jeerow baategeezezza bannamawulire nti baalabye aba al Shabaab nga bawalula emirambo gy’abajaasi ebiri mu nguudo ng’eno bwe beewaana nti basse abalumbaganyi.

Rono yagambye nti abajaasi abattiddwa bali 18 wabula tekinnamanyika oba bonna ba UPDF kuba kwabaddeko aba Gavumenti ya Somalia.

Brig. Karemire yategeezezza mu kiwandiiko kye yafulumizza nti abajaasi ba UPDF baasobodde okwerwanako era kye baakoze abatujju aba al Shabaab, bajja kulwawo nga bakitenda kuba baabakubye bubi.

Uganda erina abajaasi abasukka mu 6,000 e Somalia nga bano be bamu ku bajaasi 22,000 abali mu ggye lya AMISOM omuli amagye aga Uganda, Kenya, Burundi, ne Djibouti Aba al Shabaab bazze bakola ennumba ku bajaasi ba AMISOM era abasoba mu 2000 battiddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...