TOP
  • Home
  • Agawano
  • Poliisi ekutte omubbi eyakubwa essasi n'adduka

Poliisi ekutte omubbi eyakubwa essasi n'adduka

Added 1st August 2017

POLIISI y’e Kabowa erondodde n’ekwata omuvubuka Franko Tusuubira 32, eyakubwa amasasi mu kugulu n’adduka, bwe yali ne banne nga bazinze wooteeri ya Star Royal Motel e Kitebi.

Tusuubira yali ne banne okuli abaategeerekeseeko erinnya limu nga Steven ne Dan nga bazze okunyagulula wooteeri eno wiiki bbiri emabega.

Baali n’amajambiya n’ebyuma ebikozesebwa okumenya amayumba, ababiri bwe baayingira munda, Tusuubira n’asigala ku geeti okulabiriza ayinza okujja okugwa mu munyago gwabwe.

Omukuumi wa wooteeri eno, Blessing Ssande yakukunuka gye yali yeekukumye okwahhaanga abazigu, era mu kwetaasa yakuba amasasi okukkakkana nga gakwasizza Tusuubira mu kugulu, wabula n’adduka.

Tusuubira okukwatibwa, yasangiddwa mu ddwaaliro e Mulago gye yatwalibwa okujjanjabwa n’attottola ebyaliwo.

Agamba; ndi muvuzi wa bodaboda y’akagaali mu Ndeeba era sirina we nsula okuggyako ku ggaali yange ku kkubo. Bwe wabaawo ampa ddiiru nga tugenda.

Ne ku olwo nali ku kkubo, Dan ne Steven ne bandeetera ddiiru nga ya kubba genereeta, obutebe ne ttivvi ku wooteeri eno.

Bulijjo babadde batera okundeetera ddiiru naye nga nze ntambuza mmaali gye baba banyaze, sitera kwenyigiramu butereevu.

Nakwata ensawo eyalimu ejjambiya n’ebikola ebirala ne twolekera Kitebi ku ssaawa nga 8:00 ez’ekiro.

Nasigala ku geeti okulabiriza waleme kubaawo atugwamu, awo asikaali wa wooteeri we yajjira n’emmundu n’atandika okukuba amasasi, nali nziruka n’ankuba amasasi asatu mu kugulu, olwo ne bannange abaali munda ne bafubutuka.

Nadduka n’ebiwundu ne nsanga aba bodaboda ne mbagamba nti banzibyeko pikipiki yange ne bankuba n’amasasi.

Bano be bantwala ku poliisi e Katwe abannyongerayo mu ddwaaliro e Mulago okufuna obujjanjabi, gye banzigye okunkwata. Sinnawona okugulu kunnuma nnyo, nsaba kisonyiwo kuba nange ddiiru bampambe.”

Agambye baabadde beenyigira mu bubbi bw’okumenya amayumba, okubba amafuta mu mmotoka ennene ku makubo n’okubba ebintu bya wooteeri.

Akulira bambega ku poliisi e Kabowa, Julius Bogere agambye nti, okukwata Tusuubira baalondoola omusaayi ogwagenda gumuvaamu ng’adduka ne babuuza abantu kwe kuzuula nti yatwalibwako ku poliisi y’e Katwe, ng’eno ye yabatuusizza e Mulago gy’abadde ajjanjabirwa n’akwatibwa.

Poliisi era yagirimba ng’abanyazi bwe baamubbako pikipiki ye ne bamukuba amasasi.

Agambye nti, Tusuubira aggudddwaako emisango egy’enjawulo ku fayiro CRB 465/2017, nga kati bakyanoonya banne abadduka batwalibwe mu mbuga z’amateeka.

Wabula ebijambiya Tusuubira ne banne bye baalina kwaliko omusaayi, nga guno gugambibwa nti tegwali gwa Tusuubira ekiteebeerezebwa okuba nga waliwo gye baali basoose okukolera ne baleka nga balumizza abantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...