TOP

Engeri Sudhir gye yatega Gavt. akalippo

Added 7th August 2017

NNAGGAGGA Sudhir Ruparelia ayongedde okusiba Bbanka Enkulu enkalu, bwe kizuuse nti waliwo endagaano gye yakola ne Gavana Dr. Emmanuel Tumusiime Mutebile obutaggulwako musango ku by’okugwa kwa Crane Bank.

Sudhir ne Mutebile

Sudhir ne Mutebile

BYA AHMED MUKIIBI, FAROOQ KASULE ne MICHAEL ODENG

Endagaano eno Bukedde gye yafunyeeko kkoppi, yakolebwa March 20, 2017 wakati wa Bbanka Enkulu ku lwa Crane Bank ne Sudhir ku lulwe ne ku lw’abalina emigabo ne badayirekita ba Crane Bank n’essibwako omukono gwa Dr. Mutebile n’ogwa Sudhir.

Mu ndagaano eno eyitibwa Confidential Settlement and Release Agreement (CSRA), Sudhir yakkaanya ne Mutebile okusasula ddoola obukadde 60 (mu ssente za Uganda obuwumbi nga 215) z’agambibwa okuggya n’okufiiriza Crane Bank nga ssente ezo Sudhir yali waakuzisasulamu emirindu esatu.

Sudhir yalina okusooka okusasula ddoola obukadde 8 (eza Uganda obuwumbi nga 28) mu nnaku 30 okuva lwe baakola endagaano (March 20), addeko okusasula ddoola obukadde 10 (eza Uganda obuwumbi nga 36) nga Sudhir yalina okuzisasula mu nnaku 90 okuva lwe baakola endagaano (March 20).

Endagaano eya CSRA era eraga nti bbaalansi owa ddoola obukadde 42, Sudhir yalina okuzisasula mu ngeri ey’okuwaayo ebizimbe n’ebyobugagga ebibalirirwamu ssente ezo (ddoola obukadde 42) eri Bbanka enkulu ng’ebizimbe n’ebyobugagga ebyo bimaze okubalirirwa n’okukkaanyizibwa enjuyi zombi nti ddala bigyamu ssente ezo.

Okubalirira n’okukkaanya ku bizimbe n’ebyobugagga ebigya mu ssente ezo, kyakkaanyizibwa okukolebwa ttiimu eya Bbanka Enkulu ng’eri wamu ne ttiimu ya Sudhir nga kino kyakkaanyizibwako okukolebwa mu nnaku musanvu ng’endagaano ewedde okussibwako emikono.

Mu bizimbe n’ebyobugagga Sudhir bye yalina okuwaayo mwe muli ebyapa by’ettaka okuli amatabi ga Crane Bank ag’enjawulo wabula nga bisoose okubalirirwa ssente.

BBANKA ENKULU ERI MU KATTU

Kati Bbanka Enkulu eri mu kattu olw’okumenya endagaano bwe yasazeewo okuggula omusango ku Sudhir mu kkooti y’ebyobusuubuzi ng’eyagala kkooti emuwalirize (Sudhir) okusasula obuwumbi 397 so nga kimenya endagaano gye baakola mu March 2017.

Ku muko ogwomukaaga, Bbanka Enkulu yakkaanya ne Sudhir nti endagaano eno (CSRA) esazeewo eggoye ku byonna era mu bujjuvu bwayo eggyeeyo ekiyinza okuba nga kibanjibwa Bbanka Enkulu ne Crane Bank eri Sudhir ne Sudhir gy’ayinza okubanja.

Kyakkaanyizibwako nti, tewali ludda lujja kuwawaabira lunnaalwo mu Uganda oba ebweru w’eggwanga era buli ludda lugenda kwesasulira ssente ezisaasaanyiziddwa mu kukola endagaano eno.

Bbanka Enkulu we yaggulidde ku Sudhir omusango, nga yaakasasula (Sudhir) ddoola obukadde munaana (eza Uganda obuwumbi nga 28) nga bwe kyali kikkaanyiziddwaako mu ndagaano eya CSRA) Wabula Dr. Mutebile yategeezezza gye buvuddeko nti Bbanka Enkulu okuddukira mu kkooti kyaddiridde Sudhir okugaana okusasula ssente nga bwe bakkaanya mu ndagaano.

Sudhir naye addukidde mu kkooti ku kya Bbanka Enkulu okumenya endagaano.

Bwe yabadde tannaggulawo musango ku Bbanka Enkulu, yasoose kussaamu kwewozaako kwe mu kkooti y’ebyobusuubuzi ku musango gwa Bbanka Enkulu Mu kwewozaako kwe, Sudhir ayagala kkooti obutaganya Bbanka Enkulu okumuggulako emisango kubanga baakola endagaano.

Sudhir ayagala Mutebile n’omumyuka we, Louis Kasekende babeere abajulizi be mu musango guno.

Sudhir ayise mu bannamateeka be aba kkampuni ya Kampala Associated Advocates nga bakulembeddwaamu Bruce Musinguzi ne Elison Karuhanga.

Mu kwewoozaako kwe, Sudhir yasabye kkooti eragire Bbanka Enkulu emuliyirire obuwumbi 29 n’okumuddizza ebyapa bye n’okumuliyiriira ne ssente z’asaasaanyirizza mu musango.

Enjuyi zombi zaamaze dda okuyungula balooya baazo abagundiivu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Christine Luttu, Pulezidenti wa Rotary Club y'e Kololo ng'akwasa Charles Mugme (ku ddyo) engule.

Bannalotale basiimiddwa olw...

ABALOTALE ye Kololo basiimye abamu ku bammemba baabwe abakoleredde ennyo ekibiina kyabwe mu kutuusa obuweereza...

Abaavunaaniddwa mu kkooti y'amagye.

ABAGAMBIBWA OKUNYAGA OMUKOZ...

ABAGAMBIBWA okulumba amaka g’omukozi wa bbanka nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu kkooti y’amagye omu nakkiriza...

Ekiggwa ky'Abajulizi e Namu...

Engeri Ekiggwa ky'Abajulizi e Namugongo gye kifaanana. Eno gye battira Abajulizi era ekifo kino kyafuuka kya bulambuzi...

Abamu ku beetabye mu lukiiko.

Alina poloti etaweza 50 ku ...

Minisitule y’eby’ettaka n’okuteekerateekera ebibuga bafulumizza enteekateeka empya ey’okuzimba mu bibuga. Bategeezezza...

SPC Faizal Katende.

SPC Faizal Katende eyakwati...

OFIISA wa poliisi SPC Faizal Katende asabye kkooti emukkirize okuyimbulwa ku kakalu ka`ayo. Bino Ssentebe wa kkooti...