
Balooya; Makubuya ne Mpanga
Abamu ku Bannamateeka ba MMAKS ye; Timothy K. Masembe, Apollo N. Makubuya, Moses J. Adriko, Mathias V. Ssekatawa, Ernest S. Kaggwa, Isaac Walukagga, Fiona N. Magona ate AF Mpanga Advocates ya Munnamateeka ow’erinnya Daudi Mpanga.
Masembe akulira MMAKS mukugu nnyo mu misango gy’ebyensimbi.
Kigambibwa nti y’omu ku basinga okuwoza emisango gy’ebyensimbi mu ggwanga.
Masembe yawolerezaako Crane Bank nga tennaggalwa mwe yasabira kkooti ey’oku ntikko esazemu ekiragiro kya kkooti ejulirwamu eyali egiragidde okusasula ssente US$ 1,530,000 eri bakasitoma baayo nga bagivunaana okubafera. Omusango Masembe yaguwangula.
Yawolereza ba Guarantees ba Citibank Uganda Limited mwe yali eyagalira bagiriyirire ddoola 9,400,000 ng’amagoba ku looni.
Yataasaako Barclays Bank of Uganda Limited mu musango gwa ddoola 20,000,000 ogwali gugitudde mu kifuba.
Masembe era yawolereza Bbanka Enkulu mwe yali evunaanibwa okumenya amateeka ga Copyright nga bakozesa ekifaananyi ky’omuntu awatali lukusa.
Omuwaabi yali ayagala bbanka emuliyirire obuwumbi mukaaga.
Wabula Masembe yaguwuuta buva.Yawangula omusango ogwali guvunaanibwa Centenary Bank Ltd, East African Development Bank, Harveen Gadhoke, George Opiyo, Mukono Industries (U) Limited ne Hussein Muhammed okumenya obukwakkulizo bwa looni.
Abawaabi baali baagala obuwumbi 32. Ne munne Mpanga si waakusaaga kuba naye yeerisa nkuuli mu misango gy’engassi.