
Sheikh Ssemambo ng'ayogerera ku dduwa
Omumyuka wa mufti wa Uganda, Sheikh Abudarah Ssemambo bwe yabadde mu dduwa y’omugenzi Al- Hajji Ibrahim Majwiiga e Kijajjasi mu ggombolola y’e Ndagwe mu disitulikiti y’e Lwengo yagambye nti ebbuba lyeyongedde mu bafumbo ne batuuka n’okutting'ana ekitali kirungi n’abasaba okwagalana kuba awali omukwano ebintu bingi ebitasoboka.
“Leero twajjiddwa essimu za 'touch' zino zisaanyirizzaawo ddala obufumb. Ggwe ssebo n’ova gy'ovudde n’osanga ng’omukazi obwongo bwe n’amagezi abumalidde ku ssimu kyokka nga tewali yadde otuzzi twategekedde bba, mulowooza kiki ekiyinza okuddirira?” Sheikh Ssemambo bwe yategeezezza.
Yawadde ekyokulabirako ku mukozi abadde akola mu banka emu e
Masaka eyasangiddwa nga yattibwa muganziwe ow’ebbali kyokka nga
mufumbo, n'alabula abafumbo okukomya obwenzi mu maka kiyambeko okukendeeza ku ttemu eribalukawo buli lukya.