TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • By'obadde tomanyi ku Uhuru ne Odinga ababbinkana mu kalulu k'e Kenya

By'obadde tomanyi ku Uhuru ne Odinga ababbinkana mu kalulu k'e Kenya

Added 8th August 2017

By'obadde tomanyi ku Uhuru ne Odinga ababbinkana mu kalulu k'e Kenya. Soma wano olugendo lwabwe mu byobufuzi bya Kenya

 Raila Odinga ne Uhuru Kenyatta mu August wa 2010

Raila Odinga ne Uhuru Kenyatta mu August wa 2010

UHURU Muigai Kenyatta ye Pulezidenti wa Kenya owookuna okuva eggwanga lino lwe lyafuna obwetwaze mu December 1963.

Alina emyaka 55 nga yazaalibwa October 26, 1961.

Musajja mufumbo, mukyala we ye Margaret Gakuo Kenyatta gwe yawasa mu 1991, balina abaana basatu; Jomo Kenyatta, Ngina Kenyatta ne Jaba Kenyatta Kitaawe ye mugenzi Jomo Kenyatta, Pulezidenti wa Kenya eyasooka eyakulembere Kenya okuva 1964 okutuuka August 22, 1978 lwe yafiira mu buyinza n’asikirwa Daniel arap Moi eyafuga Kenya okutuuka mu 2002 Mwai Kibaki n’akwata enkasi okutuuka 2013.

Nnyina wa Uhuru ye Maama Ngina Kenyatta, eyali omukyala nnamba nnya mu baka Jomo Kenyatta.

Maama Ngina akyaliwo. Yasomera mu St. Mary’s School e Nairobi.

Bwe yamalako haaya, yasindikibwa mu Amerika gye yasomera mu Amherst College n’afuna diguli mu byenfuna n’Ebyobufuzi.

Bwe yadda e Kenya, yakolerako mu Kenya Commercial Bank, oluvannyuma n’atandikawo kkampuni Wilham Kenya Limited, mwe yayita okusuubula n’okutunda ebirime.

OBUGAGGA BWA UHURU

Mu kiseera kino, Uhuru ye Munnabyabufuzi asinga obugagga mu Kenya ng’azitowa ddoola ezisoba mu bukadde 500.

Alina ettaka erigambibwa okusukka mu yiika 500,000 mu bitundu bya Kenya ebisava.

Ebyobugagga bye ebirala kuliko: kkampuni nga; Commercial Bank of Afrika (CBA), Mediamax Group , K24 TV, Kameme FM, The People Daily, Mara Explorer, Voyager Ziwani, Samburu Intrepid, Mara Intrepid, Brookside, Molo Milk.

Bizinensi endala kuliko: Beta Healthcare, Timsales Holdings, Peponi School. Uhuru era ye nnannyini woooteeri zino: Voyager Beach Resort e Mombasa ne Kipunguani Explorer e Lamu.

Mu 1997, yalondebwa okuba ssentebe w’ettabi lya Kenya African National Union (KANU), mu kitundu ky’e Gatunda era yeesimbawo mu 1998 okukiikirira ekitundu ekyo mu palamenti wabula n’awangulwa Bwe yawangulwa, Pulezidenti Daniel Arap Moi, yamulonda mu 1999 okuba ssentebe wa Kenya Tourist Board.

MOI YE YAMULERA

Mu 2001, Moi yamusemba okukiika mu Palamenti wadde nga talina kifo n’amulonda n’okuba Minisita wa gavumenti Ezeebitundu.

Mu 2001 mu ttabamiruka wa KANU, Uhuru yalondebwa okuba omu ku bamyuka abana aba ssentebe wa KANU.

Mu 2002, Moi nga yeetegekera okuwummula yamuwandako eddusu okuvuganya ku bwapulezidenti ku kaadi ya KANU wabula yawangulwa Mwai Kibaki oluvannyuma lw’ebikonge bya KANU ebisinga obungi okwabulira KANU ne byegatta ku Kibaki.

Nga Kibaki awangudde obwapulezidenti, Uhuru ye yali akulira oludda oluvuganya mu Palamenti wakati wa January 2003 ne December 2007.

Mu 2005, yalondebwa okuba ssentebe wa KANU era yali ateekateeka okwesimbawo mu kulonda kwa 2007 n’asalawo okukola ddiiru ne Kibaki ne beegatta mu kalulu ka 2007, Kibaki ke yattunkiramu ne

Odinga nga kano ke kalulu Odinga k’agamba nti yanyagibwa ne kavaako okutting’ana era Uhuru yaggulwako emisango mu kkooti y’ensi yonna wadde nga gyamuggyibwako oluvannyuma.

Yalondebwa ku bwapulezidenti ekisanja ekisooka nga March 4, 2013 kyokka yalayizibwa ku bwapulezidenti nga April 9, 2013 oluvannyuma lwa kkooti ey’oku ntikko okugoba omusango ogwawaabwa Raila Odinga eyawakanya ebyava mu kulonda.

Mu kulonda kwa 2013, Uhuru yafuna obululu 6,173,433 (50.51%) ku bululu 12,221,053 obwakubwa Raila Odinga n’afuna obululu 5,340,546 (43.7%). Kati Uhuru aluubirira okuwangula ekisanja kye ekyokubiri era ekisembayo oluvannyuma enkasi agikwase William Ruto.

RAILA Amolo Odinga

Y’omu ku Bannabyabufuzi abasinga erinnya n’obugagga mu Kenya.

Abawagizi be baamukazaako amannya mangi; Abasinga bamweyitira Agwambo (ekitegeeza omuntu ow’ebyewuunyo mu Luswayiri) ate abalala bamuyita Tinga (ekitegeeza “Ttulakita”).

Waliwo abaamukazaako Baba (ekitegeeza taata mu Luswayiri), ate abalala bamuyita RAO, (amannya ge “Raila Amolo Odinga” mu bufuzi ate abalala Jakom ( ekitegeeza ssentebe mu lulimi Olujaluwo) Yazaalibwa 7 January 1945 (wa myaka 72) e Maseno mu Kenya.

Kitaawe ye Jaramogi Oginga Odinga, yali mumyuka wa Jomo Kenyatta ate nnyina ye Mary Ajuma Odinga. Pulayimale yagisomera mu Kisumu Union Primary School gye yava okwesogga Maranda High School.

Kitaawe yamuweereza e Germany n’asooka asoma emyaka ebiri mu Herder Institute nga yeetegekera okusoma diguli mu bwayinginiya Leipzig mu East Germany.

Yayitira waggulu n’afuna sikaala okweyongera okusoma mu Technical School e Magdeburg mu East Germany n’atikkirwa 1970 ng’afunye diguli mu ‘Mechanical engineering.’

Bwe yadda e Kenya, yatandika okusomesa mu University of Nairobi. Mufumbo mukyala we ye Ida Odinga gwe yawasa 1973.

Balina abaana bana; Rosemary Odinga, Fidel Odinga, Winnie Odinga ne Raila Odinga Jr. Mu 1971 ng’asomesa ku Yunivasite, Odinga yatandikawo kkampuni eya East African Spectre Ltd.’ (kkampuni yali ekola gas cylinders).

Mu 1 974 yava ku kusomesa n’atandika okukola mu ‘Kenya Bureau of Standards’ okumala emyaka ena n’atuuka ku ddaala ly’omumyuka wa dayirekita.

Pulezidenti Moi yamukwata n’amuggalira mu 1982 ku bigambibwa nti yali aluse olukwe okuwamba gavumenti n’asibwa emyaka mukaaga nga tawozeseddwa.

Yaddamu n’akwatibwa nga yaakateebwa mu September 1988 n’aggalirwa omwaka omulala n’ayimbulwa June 12, 1989, kyokka waayita omwaka gumu Moi n’addamu n’amuggalira.

Yayimbulwa June 21, 1991, n’addukira e Norway October ng’alumiriza nti Moi yali ayagala kumutta.

Yadda e Kenya mu 1992 ne yeegatta ku kibiina kya Forum for the Restoration of Democracy (FORD) n’alondebwa ng’omumyuka wa ssentebe.

Mu 1992, FORD bwe yakutukamu ebiwayi biri FORD-Kenya ekikulirwa kitaawe Jaramogi ne ‘FORD-Asili’ ekikulirwa Kenneth Matiba, Odinga yasigala mu kiwayi kya kitaawe ne yeesimbawo ku bubaka bwa Palamenti n’awangula.

Yeesimbawo ku bwapulezidenti mu 1997, n’akwata ekifo kyakusatu wabula n’asigaza ekifo kye mu palamenti.

Okuva mu June 2001 ne 2002, yali mu gavumenti ya Moi nga Minisita w’Ebyamasannyalaze era yali aguumiise ng’ayagala Moi amuwandeko eddusu kyokka Moi n’awanda ku Uhuru, Odinga n’anyiiga n’atandika ekibiina ekya ‘Liberal Democratic Party’.

Kino kyegatta ku mukago ogwa ‘National Rainbow Coalition’ ne bawagira Kibaki mu kulonda kwa 2002.

Kibaki yamuwa ekifo mu gavumenti ye nga Minisita w’Ebyamayumba wabula n’amukwata ku nkoona mu 2005, Odinga ne banne bwe baagobwa mu Gavumenti ne batandika ekibiina ekya ‘Orange Democratic Movement.’

Mu 2007, yeesimbawo ku bwapulezidenti n’awangulwa Kibaki n’awakanya ebyava mu kalulu era ebyaddirira kye kiyiwa musaayi okutuuka lwe baakola ddiiru ne Kibaki mu 2008 n’aweebwa ekifo kya Katikkiro okutuuka mu 2013.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...