TOP

Akabenje ka loole katuze 2 e Seeta

Added 9th August 2017

ABANTU babiri baafiiriddewo omulala n’addusibwa mu ddwaaliro lya Mukono Health Centre IV ng’ali bubi.

Fuso eyabadde mu kabenje.

Fuso eyabadde mu kabenje.

Kyaddiridde mmotoka ekika kya Fuso (UAZ 861B) eyabadde yeetisse obummonde okwambalagana ne lukululana (UAS 081A) eyabadde efiiridde mu kkoona ly’e Seeta okumpi n’essomero lya Seeta High mu ggombolola y’e Goma mu disitulikiti y’e Mukono.

Fuso yabadde eva mu disitulikiti y’e Kween ng’edda Kampala.

Abaafudde kwabaddeko omuserikale wa poliisi mu disitulikiti y’e Kween eyategeerekese nga George Saturday 47, enzaalwa y’omu disitulikiti y’e Kagadi eyabadde akyusiddwa okugenda mu disitulikiti ye Kakumiro n’omuyambi we ataategeerekese mannya. Emirambo gyatwaliddwa mu ggwanika e Mulago.

Abaalumiziddwa kwabaddeko omuserikale wa poliisi ye Kween CPS Limango Geofrey ( 31) enzaalwa y’e Kitgum ng’ono yabadde agenda mu luwummula.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu by’e Kween, Rogers Taitika, Saturday yabadde aweerezeddwa kukolera Kakumiro nga mukyala we yali yafa nga y’abadde alabirira abaana be.

Dereeva wa Fuso eyategeerekese nga Batia Chesanga olwakoze akabenje n’adduka.

Poliisi okuva e Seeta ng’ekulembeddwamu atwala poliisi y’ebidduka e Seeta, Muhammed Mangwa yazze n’eggyawo emirambo.

Awagudde akabenje we waafiira n’omugagga eyali nnannyini wooteeri ya Jobiah, William

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Matia Lubega eyabula ku bakadde be

Eyabula kati emyezi ebiri y...

Omwana eyabula kati emyezi ebiri nga n'okutuusa kati tannamanyikako mayitire yeeraliikirizza bazadde be nga bagamba...

Omuwala atuuyanidde mu ofii...

OMUWALA agambibwa okubba ensimbi emitwalo 290,000/= ku muvubuka yakiguddeko omuvubuka bwe yamuguddeko mu Kampala...

Ensi kuyiiya: Wuuno nnamuka...

ABAVUBUKA bangi banyooma emirimu olwo ne badda mu kwekubagiza nga bwebatalina mirimu n’obwavu obubalemesa okubaako...

Ensi ekalubye omukazi ow'em...

Nansubuga agamba ku myaka 75 asoboola okwetuusaako buli kimu.

Dr. Diana Atwine n'abakulu abalala nga balambula eddwaaliro

Dr. Atwine alagidde eddwali...

MINISITULE y'ebyobulamu ekkirizza eddwaliro ly'e Kayunga erimaze emyaka ebiri nga liddaabirizibwa litandike okujjanjaba...