TOP

Omugagga Sudhir ataddeyo okwewozaako

Added 15th August 2017

SUDHIR Ruparelia ataddeyo okwewozaako kwe mu kkooti mu musango ogwokubiri ogwamuwawaabirwa Amos Nzeyi ne National Bank of Commerce (U) Ltd.

Omugagga Sudhir

Omugagga Sudhir

ANNET NALUGGWA

Sudhir ayise mu bannamateeka be aba Kampala Associated Advocates n’asaba omusango guno gugobwe nga bamusasudde ne ssente.

Okwewozaako kwe akutadde mu kkooti enkulu etawulula enkaayana z’ebyobusuubuzi mu Kampala.

Sudhir agamba nti, ye teyeenyigirangako mu by’okugula National Bank of Commerce (U) Ltd kyokka Crane bank ye yagigula so si ye noolwekyo tebalina kumuwawaabira.

Kino kiddiridde gye buvuddeko Amos Nzeyi ne National Bank of Commerce (U) Ltd okuwawaabira Sudhir, Bbanka ya Uganda enkulu, Crane Bank ne Kasiklal Chhotalal Kantaria.

Amos Nzeyi ne National Bank of Commerce (U) Ltd mu mpaaba yaabwe bagamba nti, National Bank of Commerce (U) Ltd baagiguza Crane Bank mu bukyamu era baagala kkooti erangirire nti okutunda bbanka eno eri Crane bank nga September 27, 2012 mu ssaawa mukaaga zokka kyali mu mutima mubi noolwekyo kkooti ekimenyewo era kyakolebwa mu ngeri etaali ntuufu.

Mu musango omulala, Sudhir avunaanibwa ne kkampuni ye eya Meera Investments Limited.

Era bbanka ya Uganda Enkulu ku lwa Crane Bank, yatutte Sudhir mu kkooti eno ng’eyagala kkooti emuwalirize aseseme obuwumbi 400 ezaabulankanyizibwa okuva mu Crane Bank ne zigiviirako okugwa.

Ssente ezo ziva mu bintu bingi Sudhir bye yakola okuli n’okugaana okusasula obuwumbi 52 ez’abakozi mu kitongole ekitereka ssente z’abakozi ekya NSSF.

Empaaba ya Bbanka eraga nti Sudhir yakozesa abantu abalala okutuukiriza ebigendererwa bye.

Obumu ku bujulizi bwe baaleese kuliko ebiwandiiko bye baggye mu bbanka ebiraga ssente engeri gye zaawaanyisa emikono mu mwezi gumu okutambula mu mawanga ag’enjawulo, awamu nga zigendayo nga doola awalala ne baziweereza mu siringi.

  • August 2010, Kantaria yatambuza doola 2,300,000 bwati:
  • August 12, 2010 zikyusibwa okuva ku akawunti ya Premier Commodities ne ziweerezebwa mu ggwanga eddala eritamanyiddwa.
  • August 24, lisiiti ya RK eraga nti ssente zaaweerezebwa ku akawunti ya Kantaria mu Citibank India ate ne zikyusibwa ne baziweereza ku akawunti ya RK eri mu shilling mu Crane Bank Ltd e Uganda.
  • August 25, 2010 ssente ze zimu zaakyusibwa ne baziteeka ku akawunti ez’enjawulo okuli eya Jyotsna n’eya Nagrecha mu Crane Bank.
  • Olunaku lwe lumu ssente zaakyusibwa okuva ku akawunti eya JR ne JN eziri mu Shillings ne bazizza ku akawunti zaabwe eza doola.
  • August 27, 2010 ssente ze zimu zaakyusibwa okuteekebwa ku akawunti endala eziri mu ddoola ate ne bazissa ku akawunti ya Crane Forex, wano baazitwalira ku ceeke nnamba 611.
  • Obujulizi bulaga nti ssente zino ezaali ez’omuzindo baasooka kuzigabanyagabanyaamu olwo ne bazikyusakyusa okuziteeka ku akawunti ez’enjawulo naye nga zifundikira zizzeeyo ewa Sudhir.

Bbanka ya Uganda enkulu ng’emaze okuzuula bino byonna, yasalawo okweddiza Crane Bank mu October omwaka oguwedde.

January yagikwasizza DFCU Bank nga bw’ekyagenda mu maaso n’okunoonyereza.

Kyokka ne musango guno naye (Sudhir) yataddeyo okwewozaako kwe ng’asaba bamusasule doola obukadde 8 n’okumuwa ebyapa by’ettaka lye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...