TOP

Eyali muninkini wa Kaweesi akwasizza abaserikale ba ISO

Added 18th October 2017

POLIISI ekutte abaserikale b’ekitongole ekiketta munda mu ggwanga ekya Internal Security Organisation (ISO) basatu ku by’okusibira Christine Mbabazi Mohoza mu maka ge e Lungujja.

 Mbabazi akuumibwa ggye erikuuma Pulezidenti.

Mbabazi akuumibwa ggye erikuuma Pulezidenti.

Omukazi ono agambibwa okuba nga yali muganzi wa Andrew Felix Kaweesi era aba ISO balumiriza nti alina ky’amanyi ku by’okufa kwa Kaweesi era waliwo n’abaagala okumutta nti basaanyeewo obujulizi ku baatemula Kaweesi.

Abaakwatiddwa mu kikwekweto ekyakulembeddwa omuduumizi wa poliisi ya Kampalamukadde Grace Nyangoma ne Flying Squad Unit (FSU) kuliko Ramathan Bukenya n’abalala babiri okuli ne gwe baakwata ku Lwokuna lwa wiiki ewedde ng’agambibwa okuba nga yali asindikiddwa aba ISO okubega poliisi.

Kigambibwa nti, Bukenya y’eyali akulembedde aba ISO abaali bakuuma ku Lwokuna poliisi lwe yagendera mu maka ga Mbabazi n’eremesebwa okuyingira munda.

Omuduumizi wa Flying Squad, Herbert Muhangi yategeezezza nti, baagenda mu maka ga Mbabazi okunoonyereza ku misango ebiri okuli okubula kw’omuntu n’okutiisatiisa okutuusa obulabe ku muntu wabula amagye ne gabalemesa okukola omulimu ogwali gubatutteyo.

Muhangi yagambye nti, okugenda ewa Mbabazi baali baduukirira omulanga Mbabazi gwe yeekubira ku poliisi ey’e Nateete ne Kampalamukadde gye yaggulawo emisango ebiri ku fayiro SD 38/29/9/17 ne SD19/28/09/17.

Yategeezezza nti, tewaliwo kukoonagana wakati w’abaserikale ba ISO ne poliisi wabula Pulezidenti Museveni ye yalagira amagye agatalina ludda aga Special Forces Command (agakuuma Pulezidenti) okuyingira mu nsonga era we bwazibidde ku Lwokubiri, ng’abaserikale ba SFC be bakyakuuma amaka ga Mbabazi.

Dayirekita wa ISO, Col. Frank Bagyenda Kaka yakwata Mbabazi n’amuggalira mu maka g’omukazi ono agali mu Ssendawula zooni e Lungujja ng’alumiriza okubaako ky’amanyi ku kutemulwa kw’eyali omwogezi wa poliisi Andrew Felix Kaweesi.

Mbabazi yakwatibwa September 15, 2017 ku Tal Cottages e Kabusu ng’eno Kaka gye yamuyita ng’amugambye alina bye yali ayagala okumutegeeza.

Yasooka kuggalirwa ekiro kiramba ku Tal Cottages oluvannyuma nebamuzza mu maka ge e Lungujja gye bakyamukuumira kati omwezi mulamba.

Ku Lwokuna lwa wiki ewedde, Mbabazi yeekubidde omulanga eri poliisi ya Kampalamukadde n’ey’e Nateete ng’ayagala ataasibwe ku bantu be yategeeza nti baali bamuwambye wabula poliisi bwe yatuukayo, yalemererwa okumuggyayo.

Obutakwatagana obwaliwo abamu baataputa ng’okukoonagana mu bitongole ebikuumaddembe naddala ISO ne poliisi naddala bwe kituuka ku kunoonyereza abatta Kaweesi.

Abajaasi abaali munda, bagaana okuggulawo nga bagamba nti ebiragiro bye balina teri kukkiriza gwe batategeera kuyingira maka ne Mbabazi talina kufuluma ekyawaliriza poliisi okudda emabega. Poliisi n’abajaasi ba ISO baasiiba ku bunkenke ng’emmundu bazikookinze.

Ku Lwokutaano, poliisi yayongera ku baserikale baayo obungi kyokka era ne babalemesa okutuusa eggye erikuuma Pulezidenti erya SFC lwe lyasindikibwa ne lyeddiza ebyokwerinda mu kifo ekyo.

Kaka bwe yali ayogerako ne Bukedde ku nsonga eyakwasa Mbabazi yagamba nti, ali ku musango munene ate balina amawulire nti waliwo abaagala okumutta y’ensonga lwaki balina okumukuuma obutiribiri.

Kaweesi yatemulwa nga March 17, 2017 e Kulambiro ng’agenda ku mirimu emitongole.

Yafa ne basajja be babiri ddereeva Geoffrey Mambewa n’omukuumi Kenneth Erau bwe baabakuba amasasi agasukka mu 80 emisana ttuku.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...