TOP

ISO eyongedde bwino ku kutta Kaweesi

Added 21st October 2017

OKUTEMULA Felix Kaweesi kwaddirira olukiiko mwe baakolera pulaani olugambibwa nti lwalimu dereeva wa Kaweesi, Geoffrey Mambewa ne muninkini wa Kaweesi Christine Muhoza Mbabazi.

Emmotoka mwe battira Kaweesi (ku ddyo) ng’eyaka amataala.

Emmotoka mwe battira Kaweesi (ku ddyo) ng’eyaka amataala.

Bambega ba ISO bazudde nga dereeva baamusiriwaza ne batamubuulira nti naye yali waakuttibwa.

Omulimu gwa Dereeva kwali kussaako mataala ga mmotoka ng’atuuse awali abatemu. Ekigendererwa kubamanyisa nti Kaweesi mu mmotoka yalimu.

Ekirala dereeva yalina okusiba amangu emmotoka wakati mu luguudo olwo abatemu batte Kaweesi nga teyeerwanyeko.

Kisobozese ne dereeva okuva mu mmotoka nga tatuusiddwako bisago olwo balyoke bamusasule ssente z’okumaliriza omulimu.

Obujulizi buno bwanukula ebibuuzo lwaki emmotoka mwe battira Kaweesi nga March 17,omwaka guno yali eyaka amataala emisana? Ate bwe baagikuba amasasi yasigala wakati mu luguudo.

Aba ISO bagamba nti kino kyali kitegeke- amataala dereeva ye yagassaako okukakasa abatemu nti Kaweesi yalimu mu mmotoka. Era ye yagiyimiriza mu luguudo.

Dereeva ky’ataamanya nti abaamukozesa baali basazeewo naye okumutta olw’okutya nti oluvannyuma yali asobola okwogera ebyama ekirala beewala okwekaluubiriza omulimu gw’okuwonya omuntu omu mu mmotoka.

Balumiriza nti Mbabazi yali wakati mu lukwe luno ng’ali n’abanene mu poliisi.

Y’ensonga lwaki poliisi erwana bwezizingirire okulaba nga Mbabazi takwasibwa ba ISO kumuggyako bujulizi.

Bagamba nti Mbabazi bwe yamaliriza misoni yasasulwa ssente n’azigulamu ennyumba e Lungujja mu Sendawula Zooni.Mu nnyumba eno, Mbabazi mw’akuumirwa amagye.

Mbabazi naye yategeezezza Bukedde nti akulira ISO, Col. Frank Bagyenda Kaka yamutwala mu kifo ekimu n’amulumiriza nti yali mu lukwe lw’okutta Kaweesi era bwe lwaggwa baamusasula ssente obukadde 200.

Aba ISO bagamba nti okufuna obujulizi baamala kukwata wa bodaboda eyavuga n’okulagirira abatemu.

Olukiiko baalutuuza Lugogo mu kifo ekimu. Aba ISO bagamba nti beetegerezza ne bazuula nga kituufu olukiiko lwaliyo mu nnaku ezaakulembera okutta Kaweesi.

Kyokka Mbabazi abyesammula n’agamba nti bigingiriddwa aba ISO n’ebigendererwa ebyabwe.

Owa bodaboda yagamba nti mu misoni gye baaliko, bonna baali basuubiziddwa obukuumi okuva ew’omunene omu agambibwa nti ye yali ayagala okuggyawo Kaweesi.

Owa bodaboda alumiriza nti ddereeva baamukakasa nti bw’anaayimirira baali baakutta Kaweesi yekka; kyokka nga pulaani entuufu ddereeva gy’ataamanya, baalina okutta buli muntu gwe bandisanze mu mmotoka okusaanyaawo obujulizi.

Wadde lipoota ya poliisi yalaga nti emmotoka Kaweesi mwe yali UP 4778, yakubwa omupiira gw’emabega n’eyimirira, kino aba ISO baakikubamu ebituli kubanga emmotoka ey’ekika ekyo esobola okuvuga olugendo oluwerako ng’omupiira ogumu gwabise.

Aba ISO baagatta obujulizi bwe baali bafunye ne bawunzika nga balaga nti ddereeva yandiba nga yali mu lukwe era nga n’emmotoka yagiyimiriza mu bugenderevu; ng’alowooza waakuwona agabane omudidi gwa ssente ate nga ne bw’anaaba akwatiddwa, waakuyambibwa omunene ayogerwako okumuggya ku musango.

Bino biddiridde okukoonagana wakati wa poliisi n’ekitongole ekikessi ekya ISO.

Okusika omuguwa okwabadde mu maka Mbabazi nga poliisi egezaako okusiguukulula aba ISO abakuuma Mbabazi; bambega mu ISO baakutapuse ng’akabonero akalaga olukomera poliisi lw’egezaako okuteeka ku mukazi ono; bambega ba ISO baleme kumuggyamu byama birala ku batta Kaweesi.

Col. Frank Bagyenda Kaka akulira ISO mu kwogera ne Bukedde yagambye nti poliisi erina okunnyonnyola lwaki eteeka olukomera ku mukazi ono.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...