
Christine Mbabazi
Leo Ruhinda muganda wa Kaweesi era eyali akola ng’omuyambi wa Kaweesi owenjawulo, yagambye nti baludde nga beemulugunya ku ngeri poliisi gy’ekuttemu okunoonyereza ku batta omuntu waabwe era bandibadde bawa ne ISO omukisa nayo n’evaayo n’ebyayo.
Yagasseeko nti mu kunoonya abatta Kaweesi baali basuubira poliisi okunoonyereza kw’abo bonna abaali ku lusegere lwa Kaweesi wamu n’abo be yali akoonagana nabo mu poliisi, wabula tekyakolebwa.
Yagambye nti Mbabazi baali bamulaba naye nga tebamutegeera nnyo era n’enkolagana gye yalina ne Kaweesi nayo baali tebagimanyi.
Yagambye nti ISO bwe baba balina bye bazudde ebyetaaga okunoonyerezaako ku Mbabazi, poliisi yandibadde ebawagira buwagizi, amazima ne gasobola okuvaayo ku batta omuweereza waayo (Poliisi).
Yawagiddwa abamu ku ba famire ababeera e Kitwekyanjovu mu Lwengo abaagambye nti emyezi musanvu bukya Kaweesi attibwa nga March 17, 2017 balinda ekituufu ku batta Kaweesi naye tebannamatira.
Abantu 23 be baasimbibwa mu kkooti ku by’okutta Kaweesi kyokka aba famire bagamba nti ebitongole ebinoonyereza birina okukola okusinga kw’abo abali mu kkooti.