TOP

Abiriga bamutanzizza emitwalo 4 lwa kufuka ku kkubo

Added 24th October 2017

OMUBAKA w’ekibuga Arua, Abraham Abiriga kkooti emutanzizza engassi ya 40,000/- zokka olw’okusingibwa omusango gw’okufuka ku kkubo mu Kampala.

Kkooti ya KCCA y’ebadde evunaana Abriga okweyisa mu ngeri etali ya bugunjufu bwe yafuka ku luguudo okumpi n’ekikomera  kya minisitule y’ebyensimbi mu Kampala.

Abiriga olwaleero yeeyanjudde ku kkooti ya City Hall ew'omulamuzi Beatrice Khainza n'akkiriza omusango gw'okweyiisa mu ngeri eswaza bwe yafuka ku mabbali g'ekkubo.

Omulamuzi okumutanza emitwalo 4 asinzidde ku bbaluwa y'abasawo eraga nti Abiriga mulwadde wa sukaali era tasobola kusiba musulo kumala bbanga ddene, eky'okuba nga musajja akaddiye ate nga mwetowaaze kubanga tayonoonedde kkooti biseera.  

Wabula ye omuwaabi w'ekitongole kya KCCA  Iradukunda  abadde asabye omulamuzi awe Abiriga ekibonerezo eky'amaanyi olwokuba yajeemera obupande obwatimbibwa mu kibuga nga bugaana abantu obumala gamansa musulu n'okukuuma ekibuga Kampala nga kiyonjo .

Abiriga kutuuka okutwalibwa mu kkooti yakubwa ekifaananyi nga afuka ku kisenge kya minisitule yebyensimbi ekikolwa ekyali kigyamawaza ekibuga.

Ebifaananyi bya Abriga ng’ali mu ngoye ze eza kyenvu z’atera okwagala  ennyo kuba muwagizi wa NRM lukulwe byafulumira ku mikutu gy’empuliziganya era bwe yabuuzibwa bannamawulire yakkiriza nti kituufu ye yali ye afuka ku kkubo.

Kkooti ya KCCA yayita Abriga annyonnyole lwaki yali afuka ku kkubo. Oludda oluwabi lugamba nti nga September 25, 2017 ku luguudo Kyaggwe Road mu Kampala Abriga yafuka ku kkubo okumpi n’olukomera lwa minisitule y’ebyensimbi.

Era ekikolwa kino kikontana n’amateeka agafuga ekibuga agasibwawo mu 2016.

Omusango aggukiriza n’ateebwa oluvannyuma lw’okusasula engassi ya mitwalo ena gyokka.

Amateeka gano gagamba nti omuntu bw’asangibwa ng’afuka ku kkubo awa engasi ya mitwalo ena oba okusibwa emyezi ebiri oba okukola ebibonerezo byombi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....