TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi erinnye eggere mu lukung'aana lwa 'Togikwatako' e Mpigi

Poliisi erinnye eggere mu lukung'aana lwa 'Togikwatako' e Mpigi

Added 3rd November 2017

Poliisi ye Mpigi eggulo yalinnye eggere mu lukungaana lwa pulezidenti wa FDC, munnamagye Maj. Gen Mugisha Muntu lwe yabadde agenda okukuba mu kabuga k’e Mpigi ng’egamba nti luyinza okutataaganya abayizi ba P.7 ababakola ebigezo byabwe ebyakamalirizo.

 Muntu ng'asaba aba FDC akalulu mu wooteri ya Homeland e Mpigi

Muntu ng'asaba aba FDC akalulu mu wooteri ya Homeland e Mpigi

Poliisi okuyimiriza olukung’aana luno kyaddiridde abakulembeze b’ekibiina kya FDC nga bakulembeddwaamu Mugisha Muntu okutuuza olukiiko lw’abakulembeze ba disitulikiti y’e Mpigi, Butambala ne Gomba mu woteeri ya Homeland e Mpigi we baabadde bagenda okusimbula basisinkane abantu baabwe mu kabuga k’e Mpigi okwogerako nabo ku nsonga z’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Mu lukiiko luno Mugisha Muntu akunze aba FDC okwesimbawo ku bukulembeze bw’ebyalo n’emiruka bazimbe ekibiina okuva ku mirandira era n’abasaba okumuwagira awangule obwapulezidenti bw’ekibiina asobole okukitwala mu maaso ng’azimba obukulembeze obw’amazima n’okuzimba ekibiina ekiwangaazi. 

Omwogezi wa FDC era omubaka wa Kira Municipality mu Palamenti, Ibrahim Ssemujju Nganda yasabye BannaFDC e Mpigi okwewala okuzimbira ekibiina ku muntu omu kubanga kyakusigalawo era n’abakunga okuwa Muntu obuwagizi bwabwe olwebusobozi bw’abalaze emyaka etaano gy’abakulembedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.

Ekibalo ky'okulima ennyaany...

ENNYAANYA kireme ekyettanirwa abangi olw’okuba kikula mangu ate nga kirina akatale okutandikira ku bantu b’okukyalo...

Basajjabalaba

Ebyapa Basajjabalaba by'ali...

EBYAPA omugagga Haji Hassan Basajjabalaba bye yafuna ku ttaka lya Panda PL e Luzira, bisattiza abatuuze nga bagamba...

Abatuuze nga bagezaako okuzikiriza omuliro

Omuliro gwokezza amayumba 1...

ABATUUZE b’e Kawaala bali mu maziga olw’omuliro ogugambibwa okuva ku masannyalaze okusaanyaawo amayumba agawera...

Abakozi ba Imperial Royale ...

ABAKOZI ba wooteeri ya Imperial Royale bavunaaniddwa okujingirira ebiwandiiko n’okufiiriza gavumenti ya Uganda...