TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Balaajanidde Gav't ebataase ku kiddo ekimaamidde ennyanja Muttanzige

Balaajanidde Gav't ebataase ku kiddo ekimaamidde ennyanja Muttanzige

Added 6th November 2017

ABAKULEMBEZE okuva mu disitulikiti 15 ezeetoolodde ennyanja Kyoga abeegattira mu kibiina kya Lake Kyoga Integrated Management Organisation (LAKIMO) balaajanidde gavumenti eyungule amagye babataase ku bantu abaasenga mu bisamba abavuddeko envuba embi n'obumenyi bw'amateeka okweyongera.

 Abakulembeze b'abavubi nga bali ne Minisita w'ebyobulimi n'obulunzi, Vicent Bamulangaki Ssempijja. EKIF: SAMUEL KASIRYE

Abakulembeze b'abavubi nga bali ne Minisita w'ebyobulimi n'obulunzi, Vicent Bamulangaki Ssempijja. EKIF: SAMUEL KASIRYE

Bino baabitegeezezza Minisita avunaanyizibwa ku by'obulimi n'obulunzi, Vincent Ssempijja mu lukung'aana olwatudde e Nakasongola olwakubiriziddwa ssentebe waabwe Sam Kigula era nga ye ssentebe wa disitulikiti ya Nakasongola.

Baagambye nti abantu bano bayiwa omusenyu mu nnyanja, okussaamu amatabi g'emiti, ne basaba gavumenti eyanguyeeko okuggya ebisamba n'ekiddo ku nnyanja ekiremesa entambula n'okumaamira eby'ennyanja we bizaalira.

Baagambye nti abantu bano baafuuka bakyetwala ng'abasinga badduka mu bitundu birala oluvannyuma lw'okuzzaayo emisango era okubang'anga babaggyirayo busaale na majambiya kw'ossa okubannyika mu nnyanja.

Baategeezezza nti bano bakozesa kkokota okuvuba obwennyanja obuto, okutega eby'ennyanja nga beeyambisa obutwa ekifiiriza ebitundu byabwe ne gavumenti kyokka ne bannyamira olwa gavumenti okubagaana okuvuba ekikosezza eby'enfuna byabwe.

MINISITA SSEMPIJJA ABAANUKUDDE

Minisita Ssempijja yagambye nti gavumenti ng'eyita mu kitongole kya NARO egezesa obuwuka e Namulonge nga mu kiseera kyonna bugenda kusindikibwa mu nnyanja bubwebwene ekiddo kifuuke lufumo, n'agamba nti waliwo n'enteekateeka endala Gav't gye yakoze n'Abayisirayiri abagenda okubayamba okuyoola ekiddo.

Yagasseeko nti gavumenti yassaawo amagye okukuuma ennyanja ababadde bakola omulimu nga bali bweru wannyanja nga kati bamaze okutendekebwa obukodyo obwenjawulo nga bagenda kwesogga ennyanja bubeefuke n'abakozesa envuba embi.

Yasabye abakulembeze okubeera abasaale nga beewala eby'obufuzi mu nvuba embi olwo ennyanja ereme kusaanawo kuba abaana baabwe kwe bayimiridde so nga ne gavument efunamu ensimbi ezikola emirimu emirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...