TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Issa Kikungwe yeevuze mu mmotoka okugenda mu ddwaaliro

Issa Kikungwe yeevuze mu mmotoka okugenda mu ddwaaliro

Added 7th November 2017

SSENKAGGALE wa DP, Nobert Mao yagambye nti Kikungwe yeevuze yekka mu mmotoka n’agenda mu ddwaaliro e Mengo ku Lwokutaano, olunaku abasawo lwe baali baamutegeeza nti lw’ajja okulongoosebwa okumuggyamu akazimba ku bwongo.

 Abamu ku bamulekwa.

Abamu ku bamulekwa.

Ng’attottola engeri Al Hajji Issa Kikungwe gye yafudde, Mao yagambye nti: Yeevuze bulungi mu mmotoka ye ku Lwokutaano ne yeetambuza yekka okuyingira eddwaaliro! Okuggyako omutwe ogubadde gumulumaaluma ennaku ezo, tewali kirala kyonna kibadde kimuluma.

Yagambye nti okugenda mu ddwaaliro, yabadde yakola enteekateeka n’abasawo okumulongoosa ku Lwokutaano bamuggyemu ekizimba ku bwongo (Brain Tumor) ekizze kimutawaanya.

Olumu embeera ebadde etabuka, ng’omutwe gumuluma nnyo ne gumulemesa n’okulaba kyokka nga bw’atereera nga bw’omusanga tomanya nti alina awamuluma.

Omwezi oguwedde baamutegeeza ku nteekateeka y’eddwaaliro ly’e Mengo ey’abasawo abakugu okuva e Buyindi abaali bajja bayambe okulongoosa abamu ku balwadde b’ebizimba ku bwongo n’ebizibu ebirala eby’omu mitwe.

Enteekateeka eno yamugambibwa akola nga ssentebe w’ekibiina kya DP, Dr. Mayambala Kiwanuka.

Yagikkiriza ng’ategedde nti abagenda okumukolako bakugu ate bazze bakola ku bantu bangi.

Mu ddwaaliro baalongoosezza abantu 33 bonna ne badda bulungi engulu, okuggyako Kikungwe tebyagenze bulungi kubanga teyazzeemu kwogera ne bamussa ku byuma ebimuyamba okussa.

Dr. Mayambala yannyonnyodde abakungubazi mu kuziika e Nabbingo nti bwe baamaze okulongoosa Kikungwe n’atadda ngulu, abasawo baamuzzizzaayo mu ssweeta (theatre) ne bamubikkula akawompo okwongera okumulongoosa kyokka nakyo tekyataasizza.

Umar Kikungwe, mutabani w’omugenzi yategeezezza nti kitaawe teyazze ngulu oluvannyuma lw’okulongoosebwa n’agamba nti tebamanyi waavudde buzibu.

Charles Wasswa omu ku bavubuka ba UYD ababadde bajjanjaba Kikungwe yagambye nti baakitegedde nti oluvannyuma lw’okulongoosebwa, Kikungwe yalumbiddwa puleesa eyatabudde obulamu bwe, abasawo ne bakaluubirizibwa okumutaasa.

Okufa kwa Kikungwe ddibu ddene eri famire ye kuba nga August 11, 2016 mukyala we, Hajati Zainah Nalule yafiira mu ddwaaliro e Lubaga era kino kyakosa nnyo obulamu bwa Kikungwe.

Aba DP nabo okufa kwa Kikungwe kubazzizza mu nnaku y’abakulembeze baabwe abafiiridde okumukumu mu kaseera akatono akayise.

Afudde n’omwaka tegunnawera bukya bafiirwa Ssaabawandiisi w’ekibiina, Matthias Nsubuga eyafa mu December 2016 era kati ebifo ebikulu bibiri mu lukiiko lw’ekibiina olufuzi (Ssaabawandiisi n’omuwanika) bivuddemu abantu ab’amaanyi era ababadde batunuuliddwa ng’abatabaganya.

Okuziika kwetabiddwaamu abantu bangi naddala abaavudde mu Makindye Ssaabagabo be yakiikirira ebbanga eddene mu Palamenti kw’ossa bannabyabufuzi, abasuubuzi, abakulembeze mu Busiraamu n’enzikiriza endala.

E Nabbingo we baamuziise, we baaziika ne mukazi we.

ENGERI KIKUNGWE GY’APANZE OBUGAGGA BW’ALESE

Ng’oggyeeko obulamu bw’ebyobufuzi, Kikungwe abadde ategeera obusuubuzi.

Abadde alina kkampuni eziwerako mw’abadde akolera emirimu egireeta ssente, n’alema kwesigama ku za byabufuzi zokka.

  • Kkampuni ekola langi ya Cock Paint nayo ng’ekitebe kyayo kiri Nalukolongo.
  • Abadde alina kkampuni ezimba amayumba n’enguudo eyitibwa MA SSA Constructions Ltd ng’erina ekitebe kyayo e Nalukolongo.
  • Kkampuni ewola ssente eyitibwa MASSA Micro Finance Ltd. lKkampuni ekola mu by’emmere

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omukyala ng’akuuta bbebi ebinnyo.

Kozesa kigerekyampisi okuvu...

EBINNYO bwe bulwadde obukwata abaana abali wakati wa wiiki emu n’emyezi esatu. Omwana alwadde ebinnyo ebibuno biba...

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera eri bakkansala mu lukiiko lwa kkanso. Ku kkono ye Sipiika Moses Mubiru ne Town Clerk, Denis Omodi.

Balaajanye ku ky'okwerula e...

ABAKULEMBEZE mu Munisipaali y’e Nakawa balaajanidde Gavumenti okwerula ensalosalo za Munisipaali y’e Nakawa mu...

Taremwa (atudde) ng’agezaako okunnyonnyola ababanja ez’Emyoga.

Ez'emyoga zitabudde aba sal...

ABAVUBUKA abeegattira mu bibiina by’abasala enviiri mu kibuga Mbarara nga baavudde mu Kishenyi Saloon Association...

Bannamawulire okuva mu Busoga, abeetabye mu musomo.

Omukungu alaze ekyalemesa N...

Omukungu akulira ekitongole ekivunaanyizibwa okukuuma n’okulabirira obutonde, Dr. Daniel Babikwa ategeezezza nti...

Ssentebe Bbaale (ayambadde enkofiira) n’abatuuze. Ow’okubiri ku kkono ye Ssendi.

▶️ Ab'e Mutundwe batabukid...

ABATUUZE mu zooni ya Kweba e Mutundwe, bavudde mu mbeera ne balumba ekkolero ly'omugagga Joseph Kiyimba, nnannyini...